TOP

Ochola ayimirizza okukyusa bamayinja mu poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 17th March 2018

Ochola ayimirizza okukyusa bamayinja mu poliisi

Oc1 703x422

Okoth Ochola aduumira poliisi

OMUDUUMUZI wa poliisi omuggya Martin Okoth Ochola ayisizza ekiragiro ekikugira ofiisa yenna okukola enkyukakyuka ku baserikale ab’amadaala aga waggulu, okuggyako ng’enkyukakyuka ezo zimaze kuyita mu ofiisi ye ne zikakasibwa.

Mu kiwandiiko ekyafumumiziddwa poliisi nga nga kiriko omukono gw’avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu poliisi Moses Balimwoyo nga kyaweerezeddwa buli ofiisa omuli abakulira ebitongole (Departments), abaduumira poliisi z’ebitundu (RPC) kw’ossa abaduumira poliisi za disitulikiti oba Divizoni (DPC) Ochola yabalagidde nti, okukyusa abaserikale abatandikira ku mayinja asatu (ASP) okudda ku madaala aga waggulu, enkyukakyuka ezo zirina kusooka kukakasibwa ofiisi ye n’ekitebe kya poliisi e Naggulu.

Bino we bijjidde nga waliwo abaduumuzi n’abakulira ofiisi ez’enjawulo ababadde baakyusa abaserikale okubaggya mu bitundu mwe bakolera ne basindikibwa mu bitundu ebirala nga tebalina gwe beebuuzizzaako.

Ochola yalagidde ekyo kikomezebwe bunnambiro. Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti kati Ochola atandise okukozesa ku buyinza oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga boofiisa abamuli wansi bamunyooma nga bamanyi omuntu omu yekka Gen. Kale Kayihura abadde aduumira poliisi. Ochola yakwasiddwa ofiisi ku Lwokuna e Naggulu era Kayihura bwe yabadde awaayo obuyinza yalabudde aba poliisi nti omuntu gwe bafunye tasaagira mu bya mpisa.

Bwe yali mu Palamenti, Ochola yategeeza ababaka nti abadde awa ebiragiro ku boofiisa ab’amadaala aga wansi wabula ne bitassibwa mu nkola nga baabiwadde baddukidde ewa Gen. Kayihura n’abikyusa.

Hajji Balimwoyo mu kiwandiiko kye yaweerezza abaserikale bonna yagambye nti, abaduumira poliisi mu bitundu eby'enjawulo ne ofiisi zonna bwe balaba nga waliwo obwetaaavu obw'amangu okukyusa abaserikale balina okuwandiikira ekitebe kya poliisi e Naggulu kibawabule nga tebannakola nkyukakyuka ezo. Ekiragiro kino kyatandikiddewo okukola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi