TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ddereeva wa Sk Mbuga bamukwatidde mu muyiggo gw'okukwata abatta Suzan Magara

Ddereeva wa Sk Mbuga bamukwatidde mu muyiggo gw'okukwata abatta Suzan Magara

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2018

Ddereeva wa Sk Mbuga bamukwatidde mu muyiggo gw'okukwata abatta Suzan Magara

Jab2 703x422

Ssengooba

POLIISI yakutte ddereeva w’omugagga SK Mbuga, mu bikwekweto ebigenda mu maaso okuyigga abatemu abatta omuwala Suzan Magara . Eyakwatiddwa ye Abudallah Ssengooba ng’ono era y’abadde avuga n’omusajja ayitibwa Patrick Agaba eyakwatiddwa e South Africa gwe balumiriza nti ye yakulira olukwe lw’okuwamba n’okutta Suzan Magara.

Kigamba nti Ssengooba muvubuka abeera ennyo ku lusegere lw’abagagga bangi era mu mbeera eno weyafunira akakwate ne Patrick Agaba gw’abadde ng’avuga ebiseera by’abeera mu Kampala ng’avudde e South Africa.

Ekyasinze okukwasa Ssengooba, kwe kusanga amasimu ge yakubiranga Agaba mu kiseera omugenzi Suzan Magara lwe yakuumirwa mu buwambe ng’abebyokwerinda baagala Ssengooba abannyonnyole biki bye yali ayogeraganya ne Agaba mu kiseera ekyo. Ab’ebyokwerinda era balumiriza nti olunaku Agaba lwe yadduka mu Uganda, Ssengooba ayinza okuba nti ye yamuvuga okumutwala ku kisaawe e Ntebe okulinnya ennyonyi okugenda e South Africa.

Ssengooba yakwatiddwa wiiki ewedde n’asooka akuumirwa ku CPS mu Kampala kyokka oluvannyuma yaggyiddwaawo n’atwalibwa e Nalufenya gy’akuumirwa mu kiseera kino nga bwe bamubuuza kajjogijjogi w’ebibuuzo ku nkolagana ye ne Agaba atera ennyo okweyita Pato. Wabula omu ku b’emikwano gya Ssengooba eyamanya ku kukwatibwa kwe, yategeezezza nti bo balina obukakafu nti munnaabwe talina misango era kino ajja kukivaamu.

 ato gaba ngali mu emu ku mmotoka ezebbeeyi zatera okubeera nazo Pato Agaba ng’ali mu emu ku mmotoka ez’ebbeeyi z’atera okubeera nazo.

 

Yagambye nti ekyasinze okumuleetera obuzibu masimu ga Agaba . Yayongeddeko nti Ssengooba okukwatibwa yamaze kufuna masimu g’abantu abatategeerekeka nga bamubuuza ku bya Magara ne Pato n’asalawo ye kennyini okwetwala ku CPS azuule ekituufu nti olweyanjudde abaserikale baamukutte bukwasi ne bamussa munda oluvannyuma baamwongeddeyo ppaka Nalufenya.

Kigambibwa nti ng’oggyeko okuvuga abagagga, Ssengooba era y’abadde abakolera ku mpapula kwe basasulira emisolo za mmotoka zaabwe ez’ebbeeyi ng’emirimu gye gino gibadde gimuleetera okukolagana ennyo n’abantu nga Agaba nti kyokka kati kimuleetedde emitawaana.

EBIRALA EBIKWATA KU AGABA Patrick Agaba (PATO) eyakwatiddwa ab’ebyokwerinda e South Africa kizuuse nti azzze yeenyigira mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka, ng’okuwamba abantu n’asaba ssente ssaako n’okubba mmotoka ez’ebbeeyi n’azitunda n’afuna omusimbi n’acakala.

Abamu ku bavubuka abamumanyi okuli ne mikwano gye bagamba nti ekya Agaba okukwatibwa tekyabewuunyisizza kubanga guno si gwe mulundi gwe okusoose okwenyigira mu bikolwa nga kino era azze ayogerwako ne mu misango emirala omuli n’egy’obufere.

Omu ku Bannayuganda e South Africa ng’abeera mu kitundu kye kimu ne Pato yategeezezza nti ono talina mulimu gwa nkalakkalira gwakola kyonna ekimuwa ssente akikola.

Ono agamba nti Pato olumu yeeyita musuubuzi wa zaabu n’ebyobubagga by’omu ttaka ebirala bizinensi mw’atera okuyita n’afera abantu ate abalala abaferera mu kweyita musawo wa kinnansi nga Bannayuganda abalala bangi bwe bakola.

Wadde nga kati abadde yafuna ssente, okwawukanako n’abavubuka abalala abaziraga, Pato si musajja wakweraga nnyo mu Uganda kyokka ate gy’abeera e South Africa abadde alabwa mu bifo eby’ebbeeyi ng’acakala naddala okuvuga n’okuvuga mmotoka ez’ebbeeyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...