TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abemmundu bazzeemu okulumba Katikkiro Rugunda annyonnyodde Masaka ne bakuba omuntu essasi

Abemmundu bazzeemu okulumba Katikkiro Rugunda annyonnyodde Masaka ne bakuba omuntu essasi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2018

Abemmundu bazzeemu okulumba Katikkiro Rugunda annyonnyodde Masaka ne bakuba omuntu essasi

Sen2 703x422

Kikabi eyakubiddwa esasi ng’ali ku kitanda.

ABEMMUNDU boongedde okusattiza ab’omu kitundu kya Greater Masaka naddala mu disitulikiti y’e Kyotera bwe balumbye eggombolola y’e Kifukamiza ne bakuba omusuubuzi w’ebirime essasi eyabadde agezaako okubawondera.

Ababbi abaabadde mu kibinja ekinene basookedde ku kunyaga abantu be baasanze mu bbaala ng’obwedda baziva kumu n’oluvannyuma ne batandika okunyaga amaduuka ng’abantu abaabadde bagezaako okubalemesa babaggyirayo emmundu.

Steven Kikabi, omusuubuzi w’ebirime yagezezzaako okulondoola ababbi ng’ali n’abavubuka n’ekigendererwa ky’okubakwata kyokka baagudde mu lukwe lwe ne bamukuba essasi mu kabina.

Kikabi nga mu kiseera kino ajjanjabirwa mu ddwaaliro e Kaliisiso yategeezezza nti ababbi emmundu baabadde bagikwese mu kkutiya ng’olwamulengedde ne bagiggyayo ne bamukuba amasasi agaamukwasizza mu kabina.

BAKUTTE ATUNDA EMMUNDU Poliisi n’abeebyokwerinda e Mutukula ku nsaalo ya Uganda ne Tanzania mu disitulikiti y’e Kyotera bakute omuvubuka Samuel Kalemera 21, ng’alina emmundu nga teriimu masasi gye yabadde anoonyeza omuguzi.

Omuduumizi wa poliisi mu Greater Masaka, Latif Zaake yategeezezza Bukedde nti Kalemera baamukwatidde mu Kasanvu Zooni nga poliisi eyagala kumanya engeri gye yafunamu emmundu eno.

Ku nkomerero y’omwezi oguwedde abemmundu baalumbye Winnie Nabatanzi gwe baasanze nga aggalawo edduuka lye e Kaliisizo ne bamukuba amasasi n’okumunyagako obukadde busatu.

Abraham Kabuusu ow’e Kacheera e Kooki mu Rakai ababbi baamukuba amasi agaamutta bwe baamusanga mu bbaala ng’abantu abalala abaaliwo babanyagako ssente eziwera akakadde kalamba.

Ku ntandikwa y’omwezi guno abemmundu baalubye omusuubuzi William Byarugaba ow’e Ntete mu ggombolola y’e Mateete e Ssembabule ne bakuba mukyala we Scovia Kemirembe n’omukozi we Rapheal Walugembe amasasi agaabasse ne banyaga ssente.

Basooka kulumba Byarugaba mu dduuka lye e Mbiriizi mu Lwego kyokka bwe baakuba tegamukwata nga wayitawo ennaku ntono ne bamulumba mu maka ge ne batta mukazi we n’omukozi wa waka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi