TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnamwandu alinnye eggere mu kwabya olumbe bamulekwa ne babun emiwabo

Nnamwandu alinnye eggere mu kwabya olumbe bamulekwa ne babun emiwabo

By Ponsiano Nsimbi

Added 18th March 2018

Nnamwandu alinnye eggere mu kwabya olumbe bamulekwa ne babun emiwabo

Lab1 703x422

Abamu ku bantu abadde batandise okwetala n'okuwata emmere y'olumbe nnamwandu b'afubutudde mu maka ge ng'akozea obuyinza obumuweereddwa poliisi

NNAMWANDU alinnye eggere mu kwabya olumbe lwa bba bamulekwa n'abekika ababadde bakedde okwesomba okujja mu lumbe bonna babtutte tebalinnya.

Bino by'abaddewo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde Mildred Tibinderana  Namwandu wa Ying Vicent Kizito owe  Kawuku –Bugiri ku  lwe Ntebe owempeta  bwe yalabye ku baana n’aboluganda lw’omugenzi nga beeyiwa mu maka ge okutegekeramu olumbe n’adduka mu kkooti ekola ku nsonga z’amaka e Makindye gye yaggye ekiragiro ekiyimiriza olumbe.

Yakomyewo ne poliisi okuva e Ntebe n’e Kisubi olwo abaana n’aboluganda abaabadde  mu ntegeka z’olumbe ne babuna emiwabo.

  semaka gwe babadde bazze okwabiza olumbe semaka gwe babadde bazze okwabiza olumbe semaka gwe babadde bazze okwabiza olumbe Ssemaka gwe babadde bazze okwabiza olumbe

Abamu ku baana n’aboluganda lwa Kizito abaalemeddewo poliisi yabakutte ne ne baggulwako ogw’okusalimbira mu maka agatali gaabwe kyokka bano oluvnnyuma baayimbuddwa.

Omugenzi Kizito yafira mu kabenje ka mmotoka  mu December 2014 e Bwebajja ku lwe Ntebe n’aleka abakyala bana ne  bamulekwa 11.Kyokka okuva olwo abaana bazze bagugulana ne Nnyabwe ono azaala baganda baabwe ababiri  okuli   Siria Namutebi ne Brian Mubiru.

Mulekwa Franci Mutebi  abadde akulira enkiiko z’olumbe, yategeezezza  nti guno mulundi gwa kusatu nga nnyaabwe abalemesa okwabya olumbe lwa kitaabwe nga akibassaako nti ekigendererwa kyabwe kumusuuza bya bugagga byeyakola ne bba .

 maka gomugenzi abaanamwebabadde bazze okwabiza olumbe Amaka g'omugenzi abaanamwebabadde bazze okwabiza olumbe

Ebimu ku by'obugagga by’omugenzi  mulimu amayumba agapangisibwa mu bitundu ebyenjawulo nga  Naggulu,Ntinda,Kisaasi,Bukoto,Bunono Ntebe ne byapa bye ttaka.

Namwandu Tebendirana bweyatuukiriddwa yategeezezza nti tagaana ba luganda lwa bba kwabya lumbe lwa Kizito wabula ky’atakkiriza kwekukwabiza olumbe luno mu maka ge.

Yagambye nti abantu bano baagala kwezza bintu bya bba. Yagambye nti Kizito bweyafa ab’oluganda n’abekika ne bekobaana okwezza emmaali y’omugenzi nga batauka n’okujingirira ekiraamo.

Abaana n’aboluganda bwe baalemeseddwa okwabya olumbe baagenze ewa ssenga waabwe Christine Ndagire e Kyengera –Mugongo gye bakumye olumbe .

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda