TOP

Don Bahat ayogedde ku by’okumusiba e Zambia

By Martin Ndijjo

Added 18th March 2018

Don Bahat ayogedde ku by’okumusiba e Zambia, yeetondedde aba famire n’abawagizi olw’obulumi bwe bayiseemu ebbanga ly’amaze mu busibe agamba kati ali bulungi.

Donbahat 703x422

Don Bahati gyebuvuddeko mu mmotoka

DON Bahati (Bahati Lubega) omu ku bavubuka ‘abasama’ mu kibiina kya Rich Gang abamanyiddwa okulya eswagga n’okuyiwaayiwa ssente buli lwe bayingirawo mu Kampala, oluyimbuddwa ategezezza bwagenda okutandikira we yakoma.

yasoose kwetondera ba famire, ab’emikwano n’abawagizi be olw’obulumi bwe baayiseemu ebbanga ly’amaze mu busibe era agamba kati ali bulungi.

Bahati era awakanyiza eby’okumukwatira mu kibinja kya basawo b’ekinnansi abagambibwa okufeera bannansi ba Zambia.

Mu bubaka bweyatadde ku mukutu gwe ogwa Face Book agamba okumukwata babadde mu lukiiko lwa mbaga, ensonga lwaki babakutte kukuba lukiiko nga tebafunye lukusa kuva mu poliisi.

Aba Millennimu Radio 90.5 FM ogumu ku mikutu gya leediyo mu Zambia be basooka okufulumya amawulire g’okukwatibwa kwa Bahati ku ntandikwa y’omwezi guno (March) nti babakwatidde mu lukiiko lw’abasawo b’ekinnansi.

Bagattako nti okusinzira ku kiwandiiko ekyafulumizibwa Namati Nshinka omwogezi w’ekitongole ekikola ku kuyingira n’okufuluma kw’abantu mu ggwanga lya Zambia (The Department of Immigration) eri bannamawulire,

Bahati yakwatibwa ne Bannayuganda abalala 40 nga bano basangibwa mu loogi emu e Kamwala mu kibuga Lusaka mu lukiiko lw’ekibiina kyabwe nga Bannayuganda abasawo b’ekinnansi abakolera mu Zambia olwali lutegekeddwa okulonda abakulembeze abaggya (association of Ugandan herbalists) era bano bakwatibwa kubanga ekibiina n’olukiiko byali bimenya mateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo