TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni ayogedde ku musujja gw'esiri n'awa minisitule y'ebyobulamu ekiragiro

Museveni ayogedde ku musujja gw'esiri n'awa minisitule y'ebyobulamu ekiragiro

By Muwanga Kakooza

Added 18th March 2018

Museveni ayogedde ku musujja gw'esiri n'awa minisitule y'ebyobulamu ekiragiro

Sh1 703x422

Pulezidenti ng'annyonnyola

PULEZIDENTI Museveni alagidde minisitule y’ebyobulamu okuwa ab’emiruka bonna 5,000 abali mu Uganda obugaali bu maanyi ga kifuba basobole okulondoola abakozesa obubi obutimba bw’ensiri gavumenti bw’egenda egabira Bannayuganda okulwanyisa omusujja.

Museveni era alagidde minisitule okussa obulungi mu nkola eky’okufiira ensiri kiyambe okukendeeza omuwendo gwa Bannayuganda abakwatibwa n’okuttibwa omusujja guno.

N’akunga abakulira abebyobulamu bonna ku disitulikiti n’abalala abakwatibwako okukola buli kisoboka okulwanyisa omusujja gw’ensiri  n’okugumalawo.

Pulezidenti bino yabyogeredde mu kibuga ky’e Kabwohe mu disitulikiti y’e Sheema ng’aggalawo kaweefube w’okugaba obutimba okulwanyisa omusujja gw’ensiri,okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa amaka g’obwa Pulezidenti.

Museveni yagambye nti mu 2017,omusujja gwakwata abantu obukadde mwenda ne guttako 5,100. N’agamba nti obulwadde buno buletebwa bwavu era butta,okulemeza n’okulemesa enkulakulana y’abantu.

Omusujja gutta abantu nga 150 buli lunaku mu Uganda n’agamba abantu okufuna obutimba bw’ensiri kijja kuyamba nnyo mu kulwanyisa obulwadde buno.E

Bundibugyo, Kagadi ,  Kasese, Mbarara ne  Sheema obutimba 19,160,875 bwe bugabiddwa.

Era yalabudde abantu obuteeyambisa butimba mu kukola kadaali wa mbaga oba okuvuba kwe kulagira ab’ebiruka 5,000 abali mu Uganda bawebwe obuggaali okulondoola obutimba buno obuteeyambisa bubi.Yakunze abantu okugenderawo mu ddwaliro bawone okufa. Yagambye nti minisitule y’ebyobulimi n’obuvubi zikolaganira awamu okussa eddagala mu bidiba okutta amagi g’ensiri.

Yebazizza gavumenti ya America ng’eyita mu kitongole kya Global Fund olw’okuyamba okulwanyisa omusujja.

Omubaka wa America mu Uganda  Deborah Malac yagambye nti America eyambe Uganda ng’egiwa obutimba  era eyagala obulwadde buno butuuke okufumwa mu Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....

Lop2 220x290

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu...

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu