TOP

Moze Radio awangudde engule y'omuwandiisi w'ennyimba asinga

By Martin Ndijjo

Added 18th March 2018

Omugenzi Moze Radio eggulo yawangudde engule y'omuwandiisi w'ennyimba asinga mu ggwanga mu mpaka z’okuyimba eza Hipipo Music Awards 2018

Moz 703x422

Moze Radio

NG'OGGYEKO eddoboozi lye erisonsomola, abawagizi b’ensike y’okuyimba baakusubwa ekitone kya Moze Radio abadde omukugu mu kuwandiika ennyimba.

Omugenzi Moze Radio eggulo yawangudde engule y'omuwandiisi w'ennyimba asinga mu ggwanga mu mpaka z’okuyimba eza  Hipipo Music Awards 2018 ezabadde ku Serena Hotel.

Mu kusoma engule eno, abantu bangi bawuuliddwa nga bagamba nti " kibi! ekitone ekyo tugenda kukisubwa..."

Aba Goodlyfe(Moze ne Weasel) era bawangudde n’engule y’abayimbi abayimbira awamu abasinga okukuba emiziki (Best Duo/Group).  

Abawanguzi abalala kuliko; Sheebah Karungi eyawangudde engule y’omuyimbi w’omwaka n’ey’omuyimbi omukyala asinga ate David Lutalo yawangudde engule y’omuyimbi omusajja asinga.

Fik Fameica eyayimba ‘Byenyenya ne Kutama’ era omu ku bayimbi abasinga okwogerwako ennaku zino yawangudde engule y’omuyimbi omupya asinga ate oluyimba lwe Kutama lwawangudde engule ya ‘Hip-Hop/Rap Song’

Ate oluyimba lwa Rema Namakula  ‘Banyabo’ (Banyabo Concert) mwe yayise okukunga abantu abajjuza ekifo kya Victoria Hall ku Serena mu konsati ye eyabaddewo wiiki ewedde, lwongedde okufuuka ensonga. Eggulo oluyimba luno lwamuwanguzza engule bbiri okuli ey’oluyimba olusinga okuba n’amakulu (Best Social Message (Inspirational ACT) ne ‘Best Afropop Song’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...