TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Wuuno bbebi Andrew Felix Kaweesi Junior ataalaba ku kitaawe: Akuze

Wuuno bbebi Andrew Felix Kaweesi Junior ataalaba ku kitaawe: Akuze

By Joseph Mutebi

Added 19th March 2018

BBEBI ataalaba ku kitaawe awa essanyu! Ye mwana wa Andrew Felix Kaweesi era nga naye baamuweera ddala amannya ga kitaawe aga Andrew Felix Kaweesi Junior.

Kitaawe 703x422

Andrew Felix Kaweesi Junior

Anaatera okuweza omwaka kubanga waali waakayita wiiki emu nga kitaawe attiddwa, ne bamuzaala.

Famire y’omugenzi AIGP Kaweesi eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga ekyafuba okulaba ng’abaana bafuna obulamu obulungi nga kitaabwe bwe yali abawa era abaana bakyasomera mu masomero kitaabwe gye yabaleka.

Abamu ku baana ba Kaweesi babiri bakyasomera ku ssomero lya Kabojja Junior School ate omuwala omukulu ye asomera ku Uganda Marty’s Namugongo.

Ng’ate ye omwana omulenzi omuto eyazaalibwa nga March 24, 2017 ku Lwokutaano mu ddwaaliro e Nakasero naye ali mu mbeera nnungi nga banne era nnyina Annet Kaweesi afuba okulaba nga naye agenda okutuuka okusoma nga waliwo ssente ezinaamutwala mu ssomero.

Omwana ono bwe yaweza emyezi ena baamubatiriza mu maka g’omukungu akola mu ofiisi y’omumyuka wa pulezidenti Kityamuweesi Musubire era ng’ono era ye yakuza omugenzi Kaweesi oluvannyuma lwa bazadde be okufa ng’akyali muto.

Mu ngeri y’emu aba famire y’omugenzi Kaweesi baali si bamativu ku byokwerinda kwabwe, era y’ensonga lwaki baatuukirira abadde ssaabaduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura n’abawa obukuumi era amaka ga Kaweesi e Kulambiro gakuumibwa abaserikale abasukka mu mukaaga abakuuma omukyala n’abaana ng’atambula n’awaka ssaako ne ku mulimu okwerinda okulaba ng’embeera gye batategeera eyavaako okutta omuntu waabwe teddawo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga SSP/, Emillian Kayima yagambye nti kituufu okuva muganda waabwe lwe yafa bakyakolaganira wamu ne famire ye era n’obukuumi babubaweera ddala bulungi okulaba nga tewabawo muwatwa gwonna ate.

Yagambye nti wabula ebimu ffamire eno byeba ebasabye nga tebabisobola bagezaako okubitegeeza bakama baabwe ababasingako era akukakasa nti tewali nnyo bitagenda bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sitenda 220x290

Sitenda Ssebalu, eyali omubaka...

SITENDA Sebalu akulukusiza amaziga mu maaso ga Shaban Bantaliza, oluvannyuma lw’okukimanya nti bamuyita mubbi buli...

Sonso 220x290

Amagye gasse ababbi 4 omulundi...

Yabadde nga firimu eya “ssasi ku ssasi, nnyama ku nnyama,” amagye bwe gaabadde gakubagana n’ababbi e Mutundwe eggulo....

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...