TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Namwandu alemesezza bamulekwa okwabiza olumbe mu maka ge

Namwandu alemesezza bamulekwa okwabiza olumbe mu maka ge

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2018

NNAMWANDU alinnye eggere mu kwabya olumbe lwa bba.Aluyimirizza n’ebyokulya ebibadde bitegekebwa n’abibalesa. Batidde poliisi gye yabadde aleese okubakwata.

Namwandu 703x422

Omugenzi Eng. Kizito ne nnamwandu Tibenderana. Ku ddyo, Amaka g’e Bwebajja nnamwandu Tibenderana mwe yagobye olumbe.

Bino byabaddewo ku Lwokutaano Mildred Tibenderana ng’ono ye Namwandu wa Ying Vicent Kizito ow’e Kawuku–Bugiri ku lw’e Ntebe bwe yalabye ku baana n’abooluganda lw’omugenzi nga beeyiwa mu maka ge okutegekeramu olumbe n’addukira mu kkooti ekola ku nsonga z’amaka e Makindye gye yaggye ekiragiro ekiyimiriza olumbe.

Yakomyewo n’abapoliisi okuva e Ntebe olwo abaana n’abooluganda abaabadde mu ntegeka z’olumbe ne babuna emiwabo.        

Abaabadde bazimba ensiisiira n’abawaata emmere olwalabye poliisi, byonna baabirese awo ne basaasaana. Abamu ku baana n’abooluganda lwa Kizito abaalemeddewo poliisi yabakutte ne baggulwako ogw’okusaalimbira mu maka agatali gaabwe.

Okuva omugenzi Kizito lwe yafiira mu kabenje mu 2014, abaana n’abooluganda bazze bagugulana ne Namwandu ku kwabya olumbe lw’omugenzi.

Wadde gano ge gaali amaka amakulu era we baakumira n’olumbe, Tibenderana yabagaana okulwabizaawo ng’agamba nti bano balina ekigenderwa ky’okumugoba mu maka bezze ebintu by’agamba nti yabikola ne bba.

Omugenzi Kizito yagwa ku kabenje ka mmotoka mu December 2014 e Bwebajja ku lw’e Ntebe n’aleka abakyala bana ne bamulekwa 11.

Ku bamulekwa bano, kwe kuli omuwala Siria Namutebi n’omulenzi Brian Mubiru, Tibanderana b’azaala.

Francis Mutebi ng’ono ye mulekwa abadde akulira enkiiko z’olumbe, yategeezezza nti guno mulundi gwakusatu nga nnyaabwe abalemesa okwabya olumbe lwa kitaabwe ng’akibassaako nti ekigendererwa kyabwe kumusuuza byabugagga bya kitaabwe.

Yagambye nti kirabika nnyaabwe ono y’alina ekigenderwa ekyo kubanga bo ekigendererwa kyabwe kutukkirizza kalombolombo ka buwangwa baabye olumbe bateekeko n’omusika.

Yayongeddeko nti amangu ddala nga kitaabwe yaakafa, Namwandu yakola olukujjukujju n’agenda mu ofiisi yakola ku nsonga z’abafu (Administaror General)n’afuna obuyinza ku byobugagga by’omugenzi era okuva olwo yabassaako yabagaana okubikozesa.

Ebimu ku by’obugagga by’omugenzi mulimu amayumba agapangisibwa mu bitundu eby’enjawulo ng’e Naggulu, Ntinda, Kisaasi, Bukoto, Bunono Ntebe n’awalala, woteeri Victory Bijjo esangibwa e Masindi n’ebyobugagga ebirala nkumu.

NAMWANDU KY’AGAMBA

Tebendirana bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti tagaana baaluganda kwabya lumbe wabula ky’atakkiriza kwe kwabiza olumbe luno mu maka ge.

Yagambye nti Kizito bwe yafa abooluganda n’abeekika ne bekobaana okwezza emmaali y’omugenzi, era nti baajingirira ekiraamo ekibagabira ebyobugagga nga bagamba nti omugenzi Kizito ye yaleka akiwandiise, kyawakanya.

Baddembe okwabya olumbe mu maka g’omugenzi amalala, naye si wano ewange.

Abaana n’aboluganda bwe baalemeseddwao okulwabya baagenze ewa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Youcandresslikethisandstilllookcorporatenewwebuse 220x290

Engoye z'oyambala ku woofiisi ng'osobola...

Engeri gy'oyambala Hijaabu n'onyuma ku woofiisi ate n'osobola okusaala

Ensujjuwebuse 220x290

Abasajja muve ku biragalalagala...

Abanoonya amaanyi g'ekisajja mwettanire ebiro n'essunsa musigale nga muli balamu ate nga musaza kimu

Ababaka baweze okusimbira etteeka...

ABABAKA ba Palamenti abava mu Buganda bawadde Katikkiro Charles Peter Mayiga obweyamo nti ba kuyimirira n’abalimi...

Kkooti1 220x290

Ogw’ettemu ly’e Seguku gulindiridde...

OMUSANGO gwa Abdul Mukiibi agambibwa okutta Frank Katumba e Seguku ng’amutebereza okwagala mukazi we, Aisha Mubiru...

Kigandaweb 220x290

Omusumba Kiganda avuddeyo ku bya...

OMUSUMBA David Kiganda owa Christian Focus Centre anenyezza gavumenti okusirika obusirisi netebaako ky’ekola ku...