TOP
  • Home
  • Buganda
  • Amasomero ga pulayimale 5 goolekedde okufuumulwa ku ttaka lya Buganda

Amasomero ga pulayimale 5 goolekedde okufuumulwa ku ttaka lya Buganda

By Muwanga Kakooza

Added 20th March 2018

ABABAKA ba Palamenti balaze okutya nti amasomero ga pulayimale ataano (5) mu Kampala agaazimbibwa ku ttaka lya ‘Buganda Land Board’ gandisengulwa singa gavumenti eremerererwa okusasula Mmengo ensimbi ezikununkiriza mu bukadde 2,000 eza liizi ly’ettaka kwe gali.

Bo 703x422

Lukwago n’abayizi ba Nakasero Pulayimale.

ABABAKA ba Palamenti balaze  okutya nti amasomero ga pulayimale ataano (5) mu Kampala agaazimbibwa ku ttaka lya ‘Buganda Land Board’ gandisengulwa singa gavumenti eremerererwa okusasula Mmengo ensimbi ezikununkiriza mu bukadde 2,000 eza liizi ly’ettaka kwe gali.
 
Amasomero agoogerwako kuliko; Kitebi Primary School, Namungona /Kigobe Primary School, Katwe Primary School, KCC Busega Primary School ne Mirembe Primary School nga gavumenti yetaaga ensimbi akawumbi kamu  n’obukadde 800  okusasulira liizi ly’ettaka kwe gali.
 
Okusinziira ku lipooti y’akakiiko ka palamenti aka bajeti ekwata ku bbago ly’embalirira y’eggwanga egenda okusomwa mu June, ababaka abaakulembeddwa ssentebe w’akakiiko kano Amos Lugoloobi kaagambye nti amasomero gayinza okusengulwa singa gavumenti eremererwa okusasula ssente mu budde n’aba Buganda Land Board ne basalawo ettaka okuliw abaggagga abalala okulikolerako byebaagala.
 
Ababaka era baagambye nti abayizi abali mu ssomero lya Kalinabiri Primary School abawera nga 1,000 bali mu katu nga gavumenti ebanjibwa obuwumbi busatu n’obukadde 400 okumalayo ensimbi z’okusasula ettaka kwe liri.
 
Gavumenti yakasasulayo akawumbi kamu n’ekitundu n’ekitundu era ng’ezisigaddeyo zeetaaga zisasulwa kiwumuze emitima gy’abazadde n’abayizi abakozesa essomero lino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?