TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti eragidde Poliisi okuddiza Frank Gashumba Paasipoota ye

Kkooti eragidde Poliisi okuddiza Frank Gashumba Paasipoota ye

By Musasi wa Bukedde

Added 21st March 2018

KKOOTI ya Buganda Road eragidde poliisi eddize Frank Gashumba Paasipooti ye asobole okugenda mu lukung'aana lw’ebyobulambuzi olwa “Eco-tourism” e Bulaaya.

Gashumba2 703x422

Okuva ku kkono; Isma Kiyingi, Frank Gashumba ne Innocent Kiyingi

Nga 19 omwezi guno Gashumba yawandiikira kkooti ng'agitegeeza ku lukung'aana lw'alina okwetabamu e Bulaaya n'asaba Paasipooti ye emuweebwe era akkirizibwe okutambulamu okutuusa nga April 16 lw'asuubira okukomawo mu Uganda.

Ng’omulamuzi Ereemye tannalagira ku kya paasipooti yasoose kugoba kusaba kwa Gashumba mw'abadde ayagala emisango egyamuggulwako gyonna gigobebwe kubanga eddembe lye lyatulugunyizibwa ku poliisi n'agamba nti Gashumba talina bujulizi bw'aleese bukakasa nti eddembe lye lyatyoboolwa ku poliisi.

Ye omuwaabi wa gavumenti mu musango guno, Jonathan Muwaganya, ategeezezza kkooti nti oluvannyuma lw'abanoonyereza okwetegereza ezimu ku paasipooti za Gashumba, baafunye obujulizi obupya nga kino kijja kwetaagisa okukola ennongoosereza mu mpaaba yaabwe.

Muwaganya asabye kkooti emuweeyo ebbanga poliisi emaliririze okugatta obujulizi obupya bw'efunye era bakole ennongoosereza.

Kino omulamuzi Ereemye akikkirizza n'alagira omusango gwongezebweyo okutuusa nga April 16, 2018 era ku lunaku olwo Gashumba naye lw'alina okukomyawo paasipooti ye.

Bano bavunaanibwa emisango 26 omuli egyokujingirira, okukuba ebiragiro eby'obulimba n'okusangabibwa n'ebiragala.

Kigambibwa nti bano baajingirira sitampu za minisitule y'ebyobusuubuzi n'amateeka e Sudan ne batakoma okwo Gashumba n'alimba nti ye Frank Disans Ssenyondo, mutabani wa Joseph Lwandagga ne  Teddy Nalwanga eyazaalibwa e Namasuba mu 1968.

Oludda oluwaabi lugamba nti obulimba buno Gashumba bwe yawaayo n'afuna paasipooti empya mu 2012.

Bano era bavunaanibwa ne Ismail Kiyingi omusango gw'okusangibwa n'ebiragalalagala saako okujingirira ebiwandiiko.

Omusango gugenda kuwulirwa omulamuzi James Mawanda Ereemye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.