TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukenkufu Julius Nnyanzi awangudde engule y'okujjanjabisa obutonde ne banne abalala 20

Omukenkufu Julius Nnyanzi awangudde engule y'okujjanjabisa obutonde ne banne abalala 20

By Herbert Musoke

Added 23rd March 2018

Omukenkufu Julius Nnyanzi awangudde engule y'okujjanjabisa obutonde ne banne abalala 20

Nya1 703x422

Omukenkufu Julius Nyanzi ku kkono ng'aweebwa ceeke y'akakadde kalamba ate waggulu ku gwa kkono ng'asitudde engulire gy'awangudde

ABAWANGUZI b’empaka z’abavubuka abaliko emirimu egy’enjawulo gye batandiseewo eza Pakasa Youth Awards ezitegekebwa Vision group etwala ne Bukedde balangiriddwa ekkumi abasoose ne baweebwa akakadde ka ssente buli omu.

Omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof Bio Research y’omu ku bawangudde empaka zino nga yawangudde mu kitundu kya Kampala olw’omulembe gw’ayolesa mu bikozesebwa mu bulamu by’akola omuva mu butonde okujanjaba n’okutangira endwadde ez’enjawulo.

 

 ulius yanzi ngajaganya ne banne Julius Nyanzi  asooka ku kkono ng'ajaganya ne banne

Ku mukolo ogubadde ku kitebe kya Vision group, olwaleero abalala kuliko, Abrose Angulo, David Ntabazi, Esther Nakajigo, Henry Nsereko, John Busigye, Jeff Jjingo n’abalala.

Nyanzi agamba nti obuwanguzi bw’atuseeko bukakafu bwennyini nti ebintu by’akola biyamba abantu era nga bya mutindo.

“Nzize mpangula ebirabo eby’enjawulo okuva mu bitongole ebitali bimu nga kino kyonna kinnyongera amaanyi okutuukiriza ebiruubirirwa byange okulaba  nga twongera okukozesa  obutonde okw'ekuuma nga tuli balamu n’okutunda Uganda mu nsi yonna nga mpita mu bintu bino by’enkola kuba bigasa buli muntu ate ng’anabavubuka abalala basobola okubiyiga ne babikolamu ssente ssaako n'okwekuuma nga balamu" Bwatyo omukenkufu Julius Nyanzi bw'ategeezezza.

Ben Olopot omusunsuzi w’amawulire mu lupapula lwa New Vision agambye nti ekigendererwa kwe kulaga abavubuka abaliko bye bakola olwo n’abalala babayigireko okubaako bye batandika mu kiseera kino nga Uganda etubidde n’embeera y’ebbula ly’emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...