TOP

Maj. Galabuzi akyalojja Nalufenya

By Lawrence Kitatta

Added 24th March 2018

MAJ. Godfrey Musisi Galabuzi eyakwatibwa n’aggalirwa e Nalufenya okumala ennaku 48 ku by’okutta eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Andrew Felix Kaweesi alaze ebikolobero ebyamukolebwako. Abantu babasonseka kaamulali mu kabina, n’owulira ng’akubalagala ng’omubiri gwonna gulimu ebikufumita era ne gusannyalala.

Musisi5703422 703x422

Maj. Musisi Galabuzi ng'atwalibwa mu kkooti gye buvuddeko. Oluvannyuma yejjeerezebwa n'ayimbulwa

Eggulo Poliisi yawakanyizza ebyabadde bifulumidde mu mawulire nti ekkomera lya Nalufeenya liggaddwa n'egamba nti terinnaggalwako wabula bakyaliteesaako

MAJ. Godfrey Musisi Galabuzi eyakwatibwa n’aggalirwa e Nalufenya okumala ennaku 48 ku by’okutta eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Andrew Felix Kaweesi alaze ebikolobero ebyamukolebwako.

Yagammbye nti ekimu ku kyaliteerabira ye ngeri gye bamuteeka mu ppipa y'amazzi aganyogoga nga bbalaafu okumala eddakiika 30, era yagenda okuvaamu ng'ebitundu by’omubiri gwe ebisinga takyabiwulira.

Bwe baamuggya mu ppipa ne bamusonseka mu kigoma ekyefaananyirizaako ebitambuza mukoka, olwo ne bakuma omuliro erudda n’erudda n’ajula okwabika ng’afa obulumi. Agamba nti yawulira obulumi bw'atawulirangako era omuntu omu ayinza okufa mu kiseera ekyo.

Waliwo akakodyo ke bayita bayibuli, bassa obuti mu mpataanya z’engalo olwo ne basiba n’enkoba buli lwayongera okumyumyula olwo n’ofa obulumi era akakodyo kano kakuwaliriza n’okwogera by'otomanyi.

Waliwo akabinja ka bakubi ba kibooko abakulirwa Minaana ne Mulamira. Bano bakuba omuntu kibooko ne batuuyana ne batuuka n’okuggyamu essaati naye nga bakyakuba. Tebalina kitundu kya mubiri kye bataliza.

Abantu babasonseka kaamulali mu kabina, n’owulira ng’akubalagala ng’omubiri gwonna gulimu ebikufumita era ne gusannyalala.

Bamanyi n’okuteeka abasibe mu mmotoka nga bakusibye emikono, amagulu ne kantuntunu ku maaso olwo ne bakwetoolooza nga bakuvuga.

Ogenda okuva mu mmotoka ng’owulira kamunguluze nga n’omubiri gwonna gukuluma bya nsusso.

Okumanya nga Nalufenya tawoneka yagambye nti bwe babeera bakuyimbula bamala kukutiisatiisa nti bw'oyogera ebiriyo bajja kukuzzaayo.

Eno y'ensonga lwaki abasinga abasibiddwa e Nalufenya tebasobola kunyumiza muntu kiriyo kuba bakibagaana nga babayimbula.

Eno ye nsonga lwaki ne meeya we Kamwenge, Geoffrey Kamukama wadde yakubwa n’atuuka n’okuvunda naye bwe yayimbulwa talina kye yayogera.

Maj. Musisi yagambye nti naye kennyini baamukomekkereza nga bamuyimbula nti kalibaako ky'ayogera kyonna bakumuzzaayo.

Yagambye nti abantu be baamukwata nabo baali bapangisa be nti kyokka olwabata buli omu yakwata lirye teyaddamu kubalabikako kyokka akimanyi nti nabo eyo gye bali bakirojja.

Ebikwata ku Nalufeenya

EKKOMERA lino ligambibwa nti lyazimbibwa pulezidenti Idd Amin mu myaka gya 1970 n’e kigendererwa ky’okusibiramu abantu ab’omutawaana.

Kyokka oluvannyuma yafuulibwa poliisi eya bulijjo. Kyokka mu 2002 ekitongole kya Operation Wembley ekyali kikulirwa Brig Elly Kayanja bwe kyatandika baasalawo okuteeka amakanda e Nalufenya.

Abantu bwe beemulugunya ennyo olw’okutuluguyizibwa, Wembley yasattululwa ne bakisikiza Violent Crime Crack Unit. Erinnya lyaddamu ne likyusibwa mu 2007 ne balifuula Rapid Response Unit.

Mu December wa 2011 ekitongole kyafuulibwa Special Investigations Unit n’oluvannyuma ekyafuuka Flying Squad.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana