TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Babakutte lwa kutta baserikale n’okunyaga ssente

Babakutte lwa kutta baserikale n’okunyaga ssente

By Vivien Nakitende

Added 25th March 2018

ABASAJJA basatu bakwatiddwa nga kigambibwa nti beenyigira mu kutta abaserikale babiri abaali bakuuma ssente za kkampuni ya Denovo ku Kalwerwe oluvannyuma lw’okuzinyaga.

Help 703x422

Kalungi eyattibwa ng’ali ne famire ye. Mu katono ye Bashir Mukungu eyakwatiddwa

Abaakwatiddwa ye; Abbey Muwonge ow’e Kyengera, Bashir Mukungu ow’e Kitemu ne Martin Yeso.

ABOOLUGANDA BAAGALA ABANTU BAABWE BAWOZESEBWE

Hadijah Lukyamuzi, mukyala wa Bashir Mukungu agamba nti, “Ab’ekitongole kya Flying Squad bajja mu maka gange nga March 8, 2018 nga tukyebase nga baali ne Wasswa gwe tumanyi ku kyalo ne bantegeeza nga bwe baali baagala baze.

Yavaayo n’ajja mu ddiiro ne bamutegeeza nga mukama waabwe bwe yali amubatumye, baatandika okwaza ennyumba nti banoonya emmundu ne bayita ne ssentebe w’ekyalo kyokka tebalina kye baazuula.

Baamussa ku mpingu ne bamussa mu mmotoka ne bamutwala ku poliisi e Katwe gy’ali kati. Bwe nagenda okumulaba essimu yange ne baginziggyako ne bamala nayo wiiki bbiri nnamba nga bagamba nti balina obujulizi bwe baali baagala okuggyamu”.

Babatulugun ya Hadija Lukyamuzi yagambye nti ku Mmande ya wiiki eno bamuggya ku poliisi e Katwe ne bamutwala e Kabowa nga balina ekifo gye baasooka okumutulugunyiza kubanga ali mu mbeera mbi nga takyasobola wadde okutambula.

Yagambye nti baamutegeezezza nga bw’ali omu ku batta abaserikale abaali bakuuma ssente za kkampuni y’emigaati eya Denovo ku Kaleerwe omwaka oguwe

dde.

Mu kiseera ekyo Mukungu yali yaakava mu kkomera e Luzira ku misango gy’obubbi. Yategeezezza nti okuva bwe yakwatibwa ziweze wiiki ssatu kyokka tebannaba kumuggyako sita

timenti n’agamba nti bwe baba balina omusango batwalibwe mu kkooti bavunaanibwe. Mukungu eyabadde tasobola kutambula nga basibe banne bamukwatiridde ku poliisi y’e Kabowa, yagambye nti emisango egimuvunaanwa tagimanyiiko n’asaba atwalibwe mu kkooti bw’aba alina omusango.

Ate Zam Nakabuubi mukyala wa Abbey Muwonge ow’e Kyengera yagambye nti, bba musuubuzi wa birime n’engoye ng’abitunda e Burundi ne Sudan. Baamusookeza ku poliisi y’e Katwe gye baamuggya ne bamutwala e Makindye gy’akuumirwa.

Abaserikale abaali bakolera ku poliisi y’e Mutundwe okwali; Moses Kalungi ne Hassan Mubiru, baali bakuuma ne battibwa mu bukambwe ne ddereeva wa kkampuni Kasirye Ssengonzi. Baasooka kukuhhaana ssente okuva e Kabojja, Nateete ne bamalira ku Kalerwe gye baasanga abatemu abaabatta.

Omugenzi Mubiru eyali asigadde mu mmotoka ng’akuuma ssente ezaalimu ze baali bakuhhaanyizza mu maduuka ag’enjawulo, olwawulira amasasi kwe kufuluma amagemage munne Kalungi nga tamulaba ate ng’awulira amasasi munda gaavuga, naye kwe kukuba amasasi mu bbanga.

Ono naye abazigu abaali beebulungudde ekifo kyonna baamukuba amasasi agaamuttirawo ng’agezaako okufuluma emmotoka, ddereeva wa mmotoka Kasirye Ssengonzi, naye baamukuba amasasi agaamuttirawo, nebakuliita ne ssente zonna ezaalimu n’emmundu.

Atwala poliisi y’e Kabowa, Mukungu gy’akuumirwa, Abdu Nasser Hidujah yagambye nti, Mukungu teyatulugunyiziddwa nga mukyala we bw’agamba.

Yagambye nti okuleeta Mukungu ku poliisi e Kabowa baayagadde kubaawula, bakuumirwe mu buduukulu obw’enjawulo ag’enjawulo baleme kuwahhana magezi ku ngeri gye bayinza okwewozaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.