TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Museveni alaze Brig. Sabiiti ebintu 7 kw'aba atandira okukola

Museveni alaze Brig. Sabiiti ebintu 7 kw'aba atandira okukola

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2018

PULEZIDENTI Museveni yaligidde omumyuka w’omuduumizi wa poliisi, Brig. Muzeei Sabiiti anoonyereze ku nsonga mukaaga okwetoloolera emivuyo mu poliisi, nga kino kigendereddwamu okutereeza ekitongole kino.

Torment 703x422

Okunoonyereza kuno wekujjidde ng’aduumira poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola atandise okukola enkyukakyuka mu poliisi mw’akyusirizza boofi isa ab’enjawulo wamu n’okuzzaawo ebitongole ebimu ebyali biggyiddwawo mu kaweefube w’okutereeza ebibadde bitatambula bulungi ku mulembe gwa Gen. Kale Kayihura.

Bino byayongedde okuleetawo obunkenke era nga boofi isa bangi bajja kubuuzibwa akana n’akataano ku ngeri gye beenyigira mu mivuyo gino era abanaasangibwa nti baagirimu bakangavvulwe omuli okufi irwa ebifo byabwe. Ebinoonyerezebwako:

OBUGAGGA BWA BOOFIISA

Ensonda zaategeezezza nti boofi isa abamu balina obugagga obuwuniikiriza bw’ogeraageranya n’emisaala gyabwe kyokka ng’abamu ku bo baakaweebwa ebifo ne ofi isi mwebali.

Okunoonyereza kujja kuzuula engeri gye baakung’aanyamu ebyobugagga bino ebigambibwa nti bibaggya ku mulamwa gw’omulimu gw’ekitongole kya poliisi ne badde mu kunoonya ssente mu makubo gonna agasoboka.

Ensonda zaategeezezza nti boofi isa bangi etteeka beriragira okulangirira ebyobugagga byabwe eri Kaliisoliiso wa gavumenti, baalangirirako bitono nnyo ebisinga obungi ne babissa mu mannya g’abaana n’abeng’anda mu kaweefube w’okubikweka.

Kigambibwa nti bofi isa bano balina ettaka yiika ne yiika mu bitundu nga Nakasongola, Kayunga, Luweero, Nakaseke, Kiboga, Kyankwanzi, Mubende, Wakiso, nti era emirundi mingi beekobaana n’abagagga ne basengula abantu mu kaweefube w’okwezza ettaka ly’abatuuze mu ngeri y’obukumpanya.

Balina buzinensi ez’enjawulo omuli ne takisi, loole ezikola ssente era nga mmotoka zino abaserikale abali ku nguudo bazimanyi nti za banene mu poliisi era zo tezikwatibwako.

Buli byabugagga by’omuntu ebinaazuulibwa bijja kugeraageranyizibwa n’omusaala gwe era n’okuzuula oba yabyanjulira Kalisoliiso wa gavumenti . Boofi isa b’amadaala ag’enjawulo mu poliisi tebaweza musaala gwa kakadde ka nsimbi omwezi.

ENGABA Y’EBIFO MU POLIISI

Mu poliisi mulimu ekizibu nti emirundi mingi osanga omuserikale ali ku ddaala eryawansi nga y’akulira amusinza amayinja kino ne kireetawo obukuubagano mu nkola y’emirimu oluusi ne gizing’ama pulezidenti kye yavudde asalawo kinoonyerezebweko era kitereezebwe. Kino kibadde kirabika nnyo ku baserikale abatuula ku Region.

Okugeza ng’osanga omuntu atuula ku Wamala Region etwala disitulikiti y’e Mityana, Mubende, Kiboga, Kyankwanzi ne Gomba ng’ali ku ddaala lya Assistant Superintendent of Police (ASP) ate nga baakulira ku disitulikiti mulimu ba Superintendent of Police (SP) nga kino kitegeeza nti mu baatwala mulimu abamusinga eddaala.

Emirundi egimu kino kibadde kivaako abaserikale abamu obutassa mu nkola biragiro bibeera bibaweereddwa nga balaba ababibawa bateekeddwa kubeera wansi waabwe kyokka ate nga be babali waggulu waabwe.

SACCO YA POLIISI YAAKWETEGEREZEBWA BW’EKOLA

Poliisi yatandikawo SACCO nga kya tteeka buli muserikale okuterekamu ssente kyokka abaserikale naddala aba wansi bakaaba bagamba nti ssente eziterekebwa mu SACCO tezibayamba kuba okuzisaba okuzeewola lutalo olw’obukwakkulizo obuyitiridde obuziteekebwako.

Abaserikale aba wansi balumiriza bakama baabwe nti bo baggyayo ssente nga bwe baagala ne bagenda ne bakola ebintu byabwe ebibakulaakulanya ng’abantu n’olwekyo Brig. Sabiiti kino nakyo agenda kukitunulamu okwetegereza engeri SACCO eno gy’eddukanyizibwamu bwe kiba nga waliwo abaserikale abaalya ssente za bannaabwe, bakangavvulwe.

BA ‘CRIME PREVENTER’ BAFUUKIDDE POLIISI OMUGUGU

Ba Crime Preventer baateekebwawo Gen. Kale Kayihura okuyamba ku poliisi okulwanyisa obumenyi bwa mateeka.

Abayambi ba poliisi bano beekolamu ekibiina ekiyitibwa ‘National Crime Preventers Forum’ nga balina obukulembeze ku byalo, ku miruka, ku ku magombolola n’obw’eggwanga waggulu kyokka bangi ku bo babadde beetuukira butereevu ewa Gen. Kayihura nga tebalina muntu yenna gwe baagala kukolagana naye.

Ba crime preventer beekolamu omulimu ne baweebwa ttenda z’okuguza poliisi ebyokulya.

Bakkaanya n’abakulu abamu mu poliisi ne bapaaza ebisale by’emmere n’abakulu basobole okufi ssaako.

Olw’okuba ng’emmere babadde bagitunda buwanana kyatuusa ekitongole okuba nga tekikyasobola kubasasula era y’emu ku nsonga lwaki poliisi bagibanja obuwumbi obuwera 33 ku mmere yokka.

Olwamanya nti beetuukira baafuna amalala n’okwemanya ne batandika n’okuwa abaduumizi ba poliisi ebiragiro.

Abamu bwe baba tebasiimye muserikale babadde n’amanyi agasobola okumuloopa mu bakama be ne bamukyusa nga teyeewozezzaako.

Ba Crime Preventer abamu babadde baaweebwa pikipiki kwe bakolera emirimu, kyokka bangi ku bo baazeekomya ne bazifuula za bwannanyini kuzikozesa mirimu gyabwe egitakwatagana na gya poliisi.

BOOFIISA ABAAYITA MU KAMOOLI

Brig. Sabiiti yaweereddwa ekiragiro okwetegereza abamu ku bofi isa engeri gyebaafunamu ebifo era n’engeri gye baayingiramu poliisi.

Kigambibwa nti wakati w’emyaka 2010, 2014 ne 2016, okuyingiza abaserikale mu poliisi kwalimu emivuyo mingi ng’abantu abamu abaali basunsuddwa nga balina ebisaanyizo baalekebwa ebbali abaali tebalina bisaanyizo ne bayitawo.

Kino kyavaako abatalina busobozi bumala okuweebwa ofi isi ez’obuvunaanyizibwa era bwe baazituukamu, emirimu ne bagikola gadibe ngalye kuba baayisibwa mu kamooli nga wano wajja kutunuulirwa nnyo.

ABASIRIKALE ABATAGAMBWAKO

Wadde ng’ekitongole kirina amateeka agalina okukola ku buli muserikale abeera asobezza, naye mulimu abatakwatibwako. Bano ne bwobeera omusinga ejjinja takuwuliriza okuggyako ng’omaze kuyita mu muntu ye gw’akkiririzaamu. Bangi ku bano babadde bazza emisango naye nga bikoma awo.

Beenyigidde mu bikolwa by’okubba, okutulugunya n’okujeemera ebiragiro bya bakama baabwe naye bikoma ku fayiro kati ekiriwo fayiro zonna zakutaganjulwa era buli muntu anaasangibwa nti alina ensonga ku fayiro ye etaakolwako, ejja kuzuukusibwa akangavvulwe bwekiba kyetaagisa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba...

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Deb2 220x290

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku...

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira