TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusumba Sserwadde alabudde ku bikolwa ebivumaganya abalokole

Omusumba Sserwadde alabudde ku bikolwa ebivumaganya abalokole

By Moses Lemisa

Added 26th March 2018

Omusumba Sserwadde alabudde ku bikolwa ebivumaganya abalokole

Rwa1 703x422

Musumba Sserwadda ng'awa omukisa

OMUTUME Dr Joseph  Sserwada  owa Victory Church alabudde  abasumba b'abalokole abafudde amakanisa  bizinensi nga bino bye bimu ku bivuddeko okuvumaganya enzikiriza y'ekirokole mu ggwanga

Dr Joseph Sserwada bwe yabadde aggulawo ekkanisa ya Ndeje Victory esangibwa mu zooni y'eKanyanya e Ndejje Ssabagabo ey’omusumba  Zayid Muwanguzi  ne mukyala we Florence Muwanguzi  ku Lwomukaaga , Sserwada yategeezezza nti omusumba omulimu gwe omukulu kubuulira njiri ate mu bulambulukufu sso sikunoonya bugagga

Yagasseeko nti  abasumba abatandika amakanisa n’ekigendererwa ky’okufunamu ssente abasinga baba bafere ng’era kino kiviiriddeko amakanisa mangi okugwa olw’abagoberezi okuzuula ekituufu nti be babadde batwala ng’abasumba ekigendererwa kyabwe kya kunoonya ssente.

Omusumba Yazidi Muwanguzi  yavumiridde  abagoberezi abawaayo ebiwebwayo mu makanisa n’ekigendererwa ky’okweraga kye yagambye nti omuntu awaddeyo akakadde olw'e kweraga n’awaddeyo nusu 100 ng’akigye ku ntobo ya mutima gwe katonda gw'asinga okusiima

Yakubirizza abantu okuwanga abasumba ebitiibwa kubanga be bakitaabwe ab'omwoyo   kino kijja ku bayamba obutava ku mulamwa , yawadde eky’okulabirako eky’omusumba Bujingo ayimukidde mu kuvuma basumba banne  ng’okusinga avuma nnyo Dr Sserwada kye yagambye nti kikyamu .

“Buli lw’otawa kitiibwa muntu yakufuula ky’oli oba tomanyi ky’okola kuba Kati Bujingo ekimuvumisa Sserwada kiki ddala ng’amanyi bulungi nti ye yamufuula kyali.

Ate omusumba Haruna Nsereko  omumyuka wa Muwanguzi  yasabye abasajja okukomya okukuba bakyala baabwe ng’engoma ekiviiriddeko abaana okukula nga balaba abazadde tebawangana kitiibwa nabo ne bakula nga bakimanyi nti
abakyala bakubwa

 

yagambye nti eby’okukuba abakazi byali byadda nnyo nga kati amaka galina kutambula na kuteesa ssaako n’okwekwata katonda .

Omukolo guno gwetabiddwako abasumba ab'enjawulo okwabadde omusumba , Bishop Ronald Mukiibi ,Omusumba Firida Sserwada ,James Tenywa, Omusumba Salongo Ntale  ng’abayimbi baakulembeddwamu Angle Kisakye n’abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...

Kulanna 220x290

Eyali bba wa Kulannama awadde Kenzo...

Eyali bba wa Senga Kulannama n’amugoba, Abdul Lubega, awadde Kenzo amagezi nti byonna by’ayitamu ye (Lubega) bifaanana...