TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gav't egenda kusaasaanya obuwumbi 80 okugulira abalimi enkumbi

Gav't egenda kusaasaanya obuwumbi 80 okugulira abalimi enkumbi

By Muwanga Kakooza

Added 26th March 2018

GAVUMENTI egenda kusaasaanya obuwumbi 80 okugulira abalimi mu Uganda enkumbi nga bwe baasubizibwa Pulezidenti ng’akuba kampeyini ezaamukomyawo mu buyinza mu 2016.

Nkumbi1 703x422

Mu ngeri y’emu ekitebe kya Uganda e Rwanda ekisangibwa e Kigali lyolekedde okufumulwa mu kizimbe singa kiremwa okusasula ssente z’obupangisa mu bwangu.Okusinziira ku minisita w’eggwanga ow’ebyensimbi ,obukadde 377 ze zeetaagibwa okusasula ssente z’obupangisa n’emisaala n’ensako y’abakozi.

Bino minisita David Bahati yabitegeezezza akakiiko ka palamenti ak’ensonga za bajeti gye yatutte ebiwandiiko ng’asaba palamenti ewe gavumenti olukusa okusasaanya ssente ezo ezenyogereza mu bajeti y’omwaka gw’ensimbi 2017/18.

Ensimbi z’okugulira Bannayuganda enkumbi zigenda kuyisibwa mu kitongole ekitumbula eby’obulimi n’obulunzi ekya NAADS. 

Minisita Bahati yategeezezza nti  gavumenti era eyagala obuwumbi musanvu n’obukadde 700 ez’okutumbula eby’okuyamba ba yinvesita okutandika wano emirimu egitali gimu egivaamu ensimbi.

Minisitule y’ebyobusuubuzi yetaaga obuwumbi mwenda n’obukadde 200 okusasula ssente ezikwata ku nkolagana ya Uganda n’amawanga ag’omulirwano eya COMESA.

Gavumenti era eyagala obuwumbi 15 ez’okuddukirira abakadde okuyimirizaayo obulamu bwabwe nga zino zaakuyisibwa mu minisitule y’ekikula ky’abantu.

Akakiiko ka bajeti kagenda kwekenenya bajeti eno n’oluvannyuma kawe palamenti lipooti yako bw’ebikkiriza entegeka zigende mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerer obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...

Noonya 220x290

Ofiisa gwe baakutte ku by'okutta...

OFIISA wa poliisi gwe baakutte ku bya Kirumira, amagye gamubuuzizza ebyaliwo mu kiro kya September 8, 2018; olunaku...

Kadas 220x290

Bannayuganda abasuubulira e Juba...

SIPIIKA Rebecca Kadaga agambye nti akitegeddeko nti gavumenti ya South Sudan eyagala kweddiza katale akaazimbibwa...