TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bawambye omuwala ne basaba ssente ate ne bamutta

Bawambye omuwala ne basaba ssente ate ne bamutta

By Musasi wa Bukedde

Added 26th March 2018

YAVUDDE awaka ng’agenda kusaba wa Nabbi Kakande ku Lwokuna. Ekyaddiridde abasajja baakozesezza essimu ye okukubira abafamire babaweereze ssente obukadde butaano, oba si ekyo omuntu waabwe bagenda kumutta.

Mada1 703x422

Abatuuze b’e Nalukolongo nga balaga omulambo gwa Kyohairwe, we gwasangiddwa.

Famire yanoonyezza ssente n’efunawo 2,500,000/- ne baziweereza abatemu. Famire yakubidde abatemu essimu okukakasa oba ssente bazifunye.

Abatemu ne baddamu: engeri gye mubiyingizzaamu poliisi, temutegana kuleeta ndala.

Zino zimala. Omulambo gwa muwala wammwe mugunone mu ggwanika e Mulago.

Charity Genius Kyohairwe 33, yattiddwa mu ntiisa. Omulambo gwe gwasangiddwa Nalukolongo mu lusuku okumpi n’oluguudo lw’eggaali y’omukka. Omulambo gwabaddemu ekyayi mu bulago nga bagubambye.

Omukono ogumu gwasibiddwa ku kitooke n’omukono omulala ne gusibibwa n’ebyayi ku kitooke ekirala. Yabadde mu kiteteeyi ky’ebimuli ebyeru n’ebiddugavu.

Okumpi n’omulambo baasuddewo akawale ke ok’omunda nga kirowoozebwa nti baasoose kumusobyako. Omulambo baagutaddeko densite bbiri emu ya Bashir Musuza ow’e Lugala mu Lubaga n’eya Lovisa Edinasi Kampi ow’e Buyoka-Mauta mu Mayuge e Busoga.

Tekinnategeerekeka oba abantu bano nabo baabawamba. Charity abadde omutuuze w’e Masajja mu zooni Kibira B.

Abadde asabira wa Nabbi Kakande. Ku Lwokuna yavudde awaka ku ssaawa 2:00 ez’enkya, ng’agenda wa Kakande okusaba.

 batuuze nga bali mu nnaku Abatuuze nga bali mu nnaku.

Muliraanawa we Aggie Nalubega yategeezezza Bukedde nti yavudde awaka ku bodaboda. Avuga bodaboda naye asabira wa Kakande era batera okugenda bombi.

Ate Godwin Ahwera, mwannyina w’omugenzi yategeezezza nti ku ssaawa nga 5 ez’ekiro ku Lwokuna, baakubidde maama waabwe Grace Muhwezi abeera e Nyakashozwa mu Disitulikiti y’e Mitooma mu Ankole nga bakozesa essimu ya Charity (gwe baawambye) 0783449547. Bwe yagikutte omusajja n’amugamba:

Ffe tuli batemu (beeyise ba Super Killers), muwalawo tumulina. Wano Grace yabadde awulira muwala we ng’akaaba. Abatemu ne bagamba: twagala obukadde butaano.

Oba temuzirina nga tumutta. Grace yakubidde abafamire essimu ne batandika okuyigga ssente ekiro ekyo. Ku ssaawa 3:00 ez’enkya ku Lwokutaano, baabadde bakuhhaanyizza 4,500,000/- nga babuzaako emitwalo 50.

Ahwera yategeezezza Bukedde nti bakira banoonya ssente nga bwe bakolagana ne poliisi y’e Katwe. Poliisi nayo yakubye essimu y’omugenzi n’eyogera n’abatemu.

Ku ssaawa 5:00 ez’enkya, baaweerezza ssente 2,500,000/- ku ssimu endala eyabaweereddwa abatemu. Eri mu mannya ga Kasifa Nyakaisiki 0780255737.

Poliisi ye yabawadde amagezi baweerezeeko 2,500,000/- kubanga poliisi yabadde erowooza ng’esemberedde okubafuna.

Kyokka abafamire bwe baakubye essimu okukakasa oba ssente zituuse, eyagikutte n’addamu: Ssente zituuse.

Temwongera ndala kubanga ebintu musazeewo kubiyingizaamu poliisi. Mugende mu ggwanika

batuuze nga batuusa omulambo gwa yohairwe e ibibiAbatuuze nga batuusa omulambo gwa Kyohairwe e Kibibi.

 

e Mulago muggyeyo omulambo gwammwe.

 

Bino byonna okubaawo nga Charity baamusse dda kubanga waliwo omulambo ogwabadde gusangiddwa e Nalukolongo ku Lwokutaano ku makya ne gutwalibwa mu ggwanika, oluvannyuma ogwazuuse nga gwa Charity.

Ku Lwokutaano baagenze e Mulago kyokka ne batakakasa muntu waabwe kubanga poliisi yabadde esoose kubuzaabuzibwa densite eyasangiddwa ku mulambo nga ya mannya malala aga Lovisa ow’e Mayuge era ge gaayingiziddwa mu bitabo by’e Mulago.

Kyokka ku Lwomukaaga, famire yagenze n’ebifaananyi bya Charity ne kizuulwa nga gwe mulambo gwe.

Omulambo gwaggyiddwayo ne gutwalibwa e Masajja gy’abadde asula era ng’alinawo akafo mw’atundira caayi n’emmere.

Wano we baggye omulambo ku Lwomukaaga ekiro okugutwala e Mitooma gya yaziikiddwa eggulo.

Charity yayawukana ne bba Monday Baturaine gw’alinamu abaana babiri- Henric Atwine 3, ne Angel Batulayine ow’emyaka musanvu. Babeera ne jjajjaabwe Grace mu kyalo.

Poliisi yakutte Monday (eyazaala mu mugenzi abaana) agiyambeko mu kubuuliriza. Bino okubaawo ng’omuwala Susan Magara yaakamala okuwambibwa e Mengo n’attibwa abatemu abaasaba famire ye ssente.

Famire ya John Magara baabawa ddoola emitwalo 20, kyokka ne bamutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe