TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sheikh Muzaata akubye omusomesa ebikonde: Bamuyirimizza ku mulimu gw'obusomesa

Sheikh Muzaata akubye omusomesa ebikonde: Bamuyirimizza ku mulimu gw'obusomesa

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2018

SHEIKH Nuhu Muzaata yaboggoledde omusomesa nti toddangayo okukuba omwana wange. Amangu ago n’amupacca oluyi, omusomesa n’awunga.

Ba1 703x422

Abazadde nga batwala abaana baabwe. Mu katono, Muzaata ng’ali ne mutabani we.

Omusomesa yabadde mu kusoberwa ate Muzaata n’amuggunda ebikonde.

Muzaata bakira akuba omusomesa ng’omuserikale wa Muzaata amuli ku lusegere n’emmundu ye okumwegattako oba okumutaasa ssinga omusomesa azza omuliro.

Ekikolwa kya Muzaata kyatabudde essomero lya Bilal Islamic e Bwaise kubanga abasomesa baakunze abayizi ne babeegattako mu kwekalakaasa nga baagala abakulira essomero babeeko kye bakolera Muzaata.

Kino abakulira essomero kyabasusseeko ensonga ne bazituulamu mu bwangu ne bagamba nti Muzaata bw’atasalirwa magenzi mangu ekinaddako kukuba mukulu wa ssomero.

Olukiiko oluddukanya essomero lya Bilal Islamic e Bwaise kye lwakoze kwe kuyimiriza Muzaata Batte akulira eby’okubuulira e Kibuli, obutaddamu kusomesa ku ssomero lino wadde okulinnyawo ekigere nga bagamba nti obusiiwuufu bw’empisa bw’atuuseeko tebuweebuula ekitiibwa si kya ssomero lyokka wabula n’Obusiraamu bwonna kubanga lino lye limu ku matendekero agasinga obukulu mu ddiini y’Obusiraamu mu ggwanga.

Muzaata asomesa mu ssomero lino Oluwarabu. Muzaata asomesa byaddiini mu siniya eya Bilal kyokka mutabani we asomera mu pulayimale nayo eya Bilal. Amasomero gombi gali wamu e Bwaise.

Omusomesa yakubiddwa Lwamukaaga. Kyokka eggulo abayizi ba Bilal aba pulayimale baakedde kwekalakaasa nga bawakanya eky’omusomesa waabwe Ramathan Ssebalamu owa ssayansi okukubibwa n’aswazibwa mu maaso gaabwe.

Essomero lya Bilal pulayimale lyaggaddwa eggulo, mu kaweefube w’okukkakkanya embeera.

Ssebalamu yagambye nti ku Lwomukaaga yabadde akutte omuggo mu ngalo ng’alabirira abayizi abaabadde bayonja essomero.

“Muzaata yazze n’ankambuwalira nti abaana b’Obusiraamu tebateekeddwa kukola bulungibwansi nga baddu.

 aji uhammed aweesa wembaawo eyagobye Haji Muhammed Kaweesa Lwembaawo eyagobye.

 

Yannangidde ebigambo bye siyinza kuddamu kuyisa mu kamwa”, bwe yagambye.

N’agattako: yandabudde obutaddayo kukuba mwana we ekyaddiridde kunsamba n’ankuba empi n’ebikonde.

Yayise omuserikale amukuuma n’ankaka okukola endagaano nga bwe sijja kuddamu kukuba bayizi.

Oluvannyuma omusomesa yagenze ku poliisi y’e Kawempe n’aggulawo omusango ku fayiro SD:REF 69/24/03/2018.

Omusomesa yagambye nti ekyasinze okumuluma ye Muzaata okumukubira mu maaso g’abayizi era nga mu kiseera kino alumizibwa omugongo n’ekifuba.

Ssebalamu yasabye abakulembeze b’Obusiraamu okuyingira mu nsoga zino kuba guno si gwe gusoose Muzaata okutyoboola eddembe lya bakozi banne.

Oluvannyuma lw’abayizi okutwala ekiseera ekiwera nga beekalakaasa, abakulira essomero lino bawaliriziddwa okuyita olukiiko era ne bakkaanya abayizi okudda awaka.

Haji Muhammed Kaweesa Lwembaawo ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’essomero yategeezezza nti baasazeewo okuyimirizaako Muzaata basooke bagonjoole ensonga zino.

MUZAATA AYOGEDDE EBYABADDEWO

Muzaata bwe yatuukiriddwa yagambye nti yakubaganye n’omusomesa. Twalwanye, abagamba nti Muzaata ye yakubye si kituufu kuba ye Muzaata gwe baasinze okukuba olw’okuba gwe yabadde alwana naye muvubuka.

“Emirundi mingi nzize njogera n’abasomesa b’oku ssomero lino okukomya okukuba abaana kyokka ne bagaana okweddako. Baatuuka n’okufuna ebbaluwa okuva mu kitongole ky’Ebyenjigiriza nga nakyo kibalabula ku ky’okukuba abayizi. Mutabani wange buli kiseera abadde antegeeza nga bwe bamukuba embooko era ng’akomawo azimbye. Olumu nnagenda ensonga ne tuzimalira mu ofi isi y’omukulu w’essomero kyokka era ne kitabamalira. Nabadde siyinza kusirika nga ndaba okulinnyirira eddembe ly’abaana kususse”, Muzaata bwe yagambye.

Omwana wa Muzaata eyakubibwa twamusanze wa kitaawe n’alumiriza nti abasomesa basusse okubakuba.

Yategeezezza nti yabadde alumizibwa mu mbiriizi olw’okukubwa kibooko ezisusse.

POLIISI EYOGEDDE

Ronald Wotwali, aduumira poliisi y’e Kawempe yategeezeza nti bagenda kwongera okunoonyereza ku nsonga zino.

Yagambye nti abayizi, abasomesa bajja kubawa obukuumi nga bali ku ssomero okutuusa ng’embeera eteredde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anita 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

OMUYIMBI Bebe Cool aleese amaanyi!, Nga yaakamala okutuusa kapyata ekika kya Land Cruiser V.* ZX Model 2019 gy’agamba...

Annotation20190719080947 220x290

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya...

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...