TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abawala ababadde bava okucakala bagudde mu b'ebijambiya ne babatema

Abawala ababadde bava okucakala bagudde mu b'ebijambiya ne babatema

By Musasi wa Bukedde

Added 28th March 2018

ABAWALA basatu bagudde mu battemu ab’ebijambiya bwe babadde bava okucakala e Jinja.

Wano 703x422

Abawala mu ddwaaliro e Jinja.

Marion Amiya 17, Justine Namiro 19 ne munnaabwe ategeerekeseeko erya Maggie nga bonna bayizi ku YMCA e Wandegeya be baakiguddeko bwe bagenze mu bbaala ya Casino e Jinja okwesanyusaamu wabula ne bagwa mu battemu nga bakomawo.

Bano baavudde mu bidongo ku ssaawa 11.00 nga bukya.

Ettemu lino libadde ku kyalo Kasanja-Mbikko mu divizoni y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.

Amiya yategeezezza nti bwe baatuuse ku mulyango n’akonkona nnyaabwe okubaggulira nga banne bazzeeko ebbali okwetaawuluza.

“Nze bwe nabadde emmanju ekisajja ekyabadde tekyambadde ssaati ne kijja wendi ne kihhamba mbu tugende twegatte, bwe nakivumye ne kinsemberera era nange kwe kusembera awali bannange, wabula olwabadde okutuuka ku mulyango we bsabadde ekisajja ne kyeyongera okusembera nga kikutte ejjambiya era olwagigaludde nze ne nkutama wansi ejjambiya n’ekwata Amiya, bwe kyaleese omulundi ogwokubiri yakutte Namiro era kyamutemye mu mutwe wakati.

Maama wa Amiya yagenze okuggulawo ng’ekisajja kyagala kutema nze era bwe kityo ne kidduka” Maggie bweyategeezeza.

Amiya apooca n’ebisago mu ddwaaliro e Jinja yategeezezza nti, baalabye abasajja basatu ababagoberera bebaasoose okulowooza nti nabo batambuze bannaabwe.

“Omusajja bwe yantuukako yatema butemi teyabuuza kintu kyonna era ne nkuba enduulu wabula tekyamulobera yagenda mu maaso n’okutema mukwano gwange Justine Namiro mu kawompo, wabula ye Maggie yali yeewoma ejjambiya buli omutemu lwe yaleetanga nga ye agwa wansi ng’ettema ffe kuba twali ku luggi nga tulwana kuyingila mu nnyumba” Amiya bwanyonyodde.

Justine Namiro ye yasinze okuyisibwa obubi. Nabukenya, maama wa Amiya eyatemeddwa ku kibegabega wamu ne ku matama yanyonnyodde nga muwala we wamu ne mikwano gye bwe baava ku ssomero ku Ssande nga atebategeezezza na ku bazadde baabwe.

Bano baali bagenda Busoga kuziikirako muyizi munnaabwe eyali afiiriddwa taata we, era olwava mu kuziika ne bagenda mu bbaala ya Casino e Jinja, kwe kugwa mu batemu.

Ssentebe w’ekyalo Kasanja awaakoleddwa ettemu, Sazili Bajje ategeezezza nga abebijambiya bwe baatandiika okubatigomya omwaka oguwedde era nga babadde beekubira dda enduulu ku poliisi.

Christopher Ruhunde adduumira poliisi y’e Njeru ategeezezza nga bwe batandise omuyiggo gw’abatemu bano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebya ssentebe w’akatale k’e Busega...

Ebya ssentebe w’akatale k’e Busega babitaddemu Kitatta

Top2 220x290

Eby'ewunyisa ebyabadde mu kuziika...

Eby'ewunyisa ebyabadde mu kuziika mukoddomi wa Ntakke!

Dat2 220x290

Enkuba esudde ekikomera ky'omugagga...

Enkuba esudde ekikomera ky'omugagga n'ekitta abantu 8!

Bug2 220x290

Paasita Bugingo atabukidde abasumba...

Paasita Bugingo atabukidde abasumba abaagenze okumutabaganya ne Teddy

Mazzi2 220x290

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano...

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano