TOP

Gav't eriyiridde Bebe Cool obukadde 250!

By Musasi wa Bukedde

Added 28th March 2018

GAVUMENTI ewadde omuyimbi Bebe Cool obukadde 250 okumuliyirira ssente ze yasaasaanya mu musango gw’okukubibwa omuserikale wa poliisi amasasi mu 2010 okumpi ne Nakumatt mu Kampala.

Bebe 703x422

Bebe Cool

Ku Lwokubiri gavumenti ng’eyita mu minisitule yaayo ey'amateeka yatadde ekirango mu mawulire ga Bukedde ng’etegeeza abantu abaawaaba emisango ne baweebwa ssente okutwalayo akawunti zaabwe entuufu nga muno mwe mwabadde ne Bebe Cool (Moses Ssali) era ng’ono eggulo yatuukiriddwa n’agaana okwogera ssente entuufu ze bagenda okumuwa wadde twakizudde nti agenda kusasulwa obukadde 250.

Bebe Cool yagambye nti yakubwa amasasi mu January 26, 2010 ekiro ng’ava ku Centenary Park ayita emabega wa Nakumatt ne bakanyama be abalala okwali Cobra ne Iran Masengere ne baddusibwa mu ddwaaliro e Nsambya.

“Mu butuufu nali sikirowoozangako omuntu okuntuusa ku mbeera eyo era omwezi omulamba gwe namala e Nsambya gattako n'emyaka ebiri emiramba gye namala nga siyimba kya nkola bubi nnyo,” bwatyo Bebe Cool bwe yategeezezza.

Agamba nti bwe yatuuka okuwaaba, yasaba gavumenti okumuliyirira obuwumbi busatu wabula omulamuzi wa kkooti ey’emisango gy’engassi ku Twed Towers Kabiito yasaba Bebe Cool lisiiti zonna eza ssente zazze akozesa azigatte ku ze balina okumuliyirira wabula ng’ezisinga yali teyafaayo kuzisaba.

“Kyannuma obutafuna buwumbi busatu buno kubanga ebintu ebisinga tubikola mu butamanya kubanga omulamuzi Kabiito yansaba kontulakiti z’ebivvulu byange eby’emyaka emirala ebiri nga sinnakubwa masasi kw'aba asinziira okunsasula emyaka ebiri gye maze ku kitanda nga sirinaako n'emu ezo ne zinsuba,” Bebe Cool bwe yakkaatirizza.

Yayongeddeko nti kuno yagattako obulumi bw’obutamusasula obukadde 45, bwe yagulamu akagaali k'abalema ak'amasannyalaze ke yatambulirangako ke yaggya e Tanzania kubanga teyalina lisiiti. Bwe yatuma omuntu addeyo nga wayise emyaka ena, yasanga ow'edduuka we baakagula yasengukawo dda.

"Ssente ze nakozesa okupangisa enju kwe nasula nga hhenze okunzijanjaba mu Amerika, ez’entambula, okulya, abasawo ba nnansi abajjanga waka okuzijanjaba, eddagala lye nagulanga ery'ebbeeyi nga ndi waka n’ebirala. Ssaabasabanga liisiti ate wano e Uganda abantu abasinga tebasasula musolo gwa VAT ne lisiiti zaabwe zibeera nfu kye kizibu kye nafuna okunnemesa ssente era okukkakkana nga basasudde emyaka 2 obukadde 800 ne bannange mu myaka ebiri emabega.

Era zino minisitule y'amateeka zeeyogerako ze ssente ze twakozesa nga tuwaaba omusango okuli ne balooya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...