TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabasumba Lwanga asonyiwe Faaza Musaala ne Ssonko: Bakomyewo mu Eklezia Katolika

Ssaabasumba Lwanga asonyiwe Faaza Musaala ne Ssonko: Bakomyewo mu Eklezia Katolika

By Ponsiano Nsimbi

Added 29th March 2018

SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga alangiridde nga bw'asonyise Fr. Anthony Musaala ne Fr. Deogratias Ssonko abaali baagobwa mu Eklezia.

Musaala19 703x422

Bino abyogeredde mu mmisa y’okutukuza Omuzigo mu  Lutikko e Lubaga.

Lwanga yagambye nti bano yadde baasonyiyiziddwa kyokka tebagenda kusooka kuddamu kuwa masaakalamentu okutuusa nga batuukiriza obukwakkulizo omuli okusaba ennyo.

Fr. Musala yagobwa mu Klezia oluvannyuma lw'okwogera ebyansimattu nga bwe waliyo Bafaaza abalina abakazi ate  Fr. Ssonko yagobwa oluvannyuma lw'okwegatta ku Fr. Jacinto Kibuuka owa Mamre Centre e Namugongo.

‘’Buli muntu akola ekikyamu akiwulira mu mutima gwe. Faaza Musala ne Faaza Ssonko Mbasonyiye  twerabire eby'emabega tugende mu maaso," Ssaabasumba bwe yateegezezza.

Ssaabasumba bwe yabadde ayigiriza yagambye nti teri akakibwa kuyingira busasoorodooti nga babulimu balina okujjukira lwaki baabufuna .

Alabudde Abakristu ku bantu ababaguza omuzigo n'agamba nti omuzigo omutukuvu tegutundwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata