TOP

Afumise bba ekiso n'amutta lwa butakkaanya

By Musasi wa Bukedde

Added 30th March 2018

Abatuuze mu bitundu by’e Nateete mu ggombolola y’e Lubaga mu Kampala baaguddemu entiisa abafumbo bwe bafunye obutakkaanya omukazi n’akwata akambe n’akafumita muganzi we n’amuttirawo, oluvannyuma ne yeetwala ku poliisi.

Tta 703x422

Sarah Poney atemudde bba

Omukazi ono eyategeerekese nga Sarah Poney ow’e Nateete, omulimu gwe gwa kusiika binyeebwa ng’abadde yaganza omuvubuka eyategeerekeseeko erya Wandera bwe babadde babeera awaka.

Okumutta kyaddiridde oluyombo olwabaluseewo wakati waabwe, Wandera bwe yasanze nga Poney akyazizza omusajja mu maka gaabwe era bwe yamumubuuzizza kwe kumuddamu nti mwannyina.

Wandera yabivuddeko n’ava awaka n’agenda wabula enkeera ku Lwokutaano ku makya yakomyewo n’addamu okubuuza Poney ku mugenyi awo oluyombo we lwatandikidde ne batandika okulwana Poney kwe kukwata akaso n’akafumita Wandera n’akamubulizaamu oluvannyuma n’akaggyayo.

Yalabye amusse kwe kuddukira ku poliisi okwetaasa ku bantu okumugajambula era olwatuuseewo n’asaba abaserikale okumuwa emmotoka ya patulo etwale muganzi we mu ddwaaliro e Mulago, Ettemu lino lyakoleddwa mu ttuntu ku Lwokutaano mu kifo ekimanyiddwa nga Kitoro zooni emabega wa poliisi y’e Nateete okuliraana balakisi abaserikale abakolera ku poliisi eno we basula.

Kyokka mu kwogerako n’omukazi ono, yategeezezza nga bwe baafunye obutakkaanya ne muganzi ono ku Lwokuna olweggulo ng’era bwe bwakedde baabadde bagezaako okukkaanya, Wandera kwe kumukwata n’atandika okumunyiga amabeere era naye kwe kukwata akambe yeetaase. Poliisi yatuuse mu kifo kino okwetegereza embeera bw’ebadde.

Abantu bavumiridde ekikolwa kino ne basaba abaagalana okusonyiwagana nga bafunye obutakkaanya.

Omulambo gwaggyiddwaawo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso kyokka abaserikale ababaddewo baagaanyi okwogera ku nsonga eno.

Omutemu yagguddwaako omusango ku fayiro SD: 33/ 30/03/2018

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye