TOP

Emmotoka esse omwana wa Kayibanda

By Musasi wa Bukedde

Added 31st March 2018

Emmotoka esse omwana wa Kayibanda

Ky1 703x422

Emmotoka eyatomedde mutabani wa Kayibanda.Mu Katono ye mutabani wa Kayibanda

Jjuuzi emmotoka ya Kayibanda yamuzikirako ng’eweddemu amafuta ku Northern Bypass. Emmotoka yazzeemu okumuzikirako nga temuli mafuta, n’atuma mutabani we agagule kyokka emmotoka gye yamutomeredde n’afa. Kayibanda ng’amannya ge amatuufu ye Godfrey Sseguya yagudde ku kibabu ku Lwokuna ku makya.

Yakedde kusimbula mmotoka okugenda ku Bukedde Fa-Ma gy’akolera. Emmotoka temwabadde mafuta gamala n’emuzikirako nga yaakava awaka e Ganda mu Nsumbi okumpi n’e Nansana. Yatumizza mutabani we Ibra Matovu eyabadde akyebase ne bamuzuukusa agende anone amafuta. Matovu yakutte akadomola n’alinnya bodaboda okunona amafuta, kyokka emmotoka n’emutomera.

Kayibanda yalinze omwana nga tadda. Okuddamu okuwulira nga bamubikira anone omulambo mu ggwanika. Kayibanda yategeezezza; “Nnalinze nga ndaba omwana takomawo kwe kuyita munne ajje amuwondereko kubanga obudde bwe nnina okutuukirako ku Bukedde nalabye buyita.

Nnafunye essimu nga bantegeeza nti omwana afudde. Omwana abadde akuze ng’atandise okukola abadde muzimbi, afiiridde ku myaka 20, talese mwana.” Aba bodaboda baataayizza emmotoka eyatomedde Matovu ne bamuteekamu kyokka we baamutuusirizza e Mulago ng’afudde.

Ddereeva wa mmotoka eno Subaru UAX 453Q, Joel Ibanda 24, ow’e Kyebando - Nsumbi yakwatiddwa ali ku poliiis e Nansana. Kigambibwa nti yabadde atamidde. Yamutomeredde kumpi n’essundiro ly’amafuta erya Stabex nga waakava ku lidda e Gganda. Eyabadde avuga Ronald Lubwama ow’e Nansana Gganda yasimattuse n’ebisago ali mu ddwaaliro e Mulago.

Matovu yaziikiddwa ku Lwakutaano e Mayungwe mu Bulo e Butambala. Kayibanda atera okufuna ebizibu by’emmotoka okuggwaamu amafuta. Gye buvuddeko gaaweddemu ng’ali ku Northern Bypass n’avaamu okugenda okugagula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye