TOP

Bamufumise ekiso ne banyaga booda

By Musasi wa Bukedde

Added 31st March 2018

Bamufumise ekiso ne banyaga booda

Bo1 703x422

ABABBI bafumise omuvubuka Livingstone Mayinja 26, asula mu Nsumbi zooni e Nansana ekiso ne bamunyagako pikipiki. Bazze bamugoba okutuuka w’asula era yagezezzaako okubalwanyisa nga bw’akuba enduulu n’okuyita mukyala we amuggulire ne bamufumita ekiso ku mukono n’okumukuba oguyinja ku mugongo.

Baatutte pikipiki 809 UDQ/W. Mukyala we, Docus Kirungi eyasangiddwa e Mulago yagambye nti bba ababbi baamugoberedde ku ssaawa nga 4:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokuna era olwagguddewo oluggi amutaase yamugudde mu kifuba nga yenna abunye omusaayi. Mayinja akolera mu Kampala yatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago gy’apooceza ne bisago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye