TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga asenze amayumba e Kye bando abatuuze ne balaajana

Omugagga asenze amayumba e Kye bando abatuuze ne balaajana

By Moses Lemisa

Added 31st March 2018

Omugagga asenze amayumba e Kye bando abatuuze ne balaajana

Kip2 703x422

ABATUUZE  b’ekyebando  kisalosalo omugagga beeyasendedde amayumba balajanidde gavumenti  e muteeke  ku nninga abasasule. Wiiki ewedde  bawanyondo ba kkooti  abaabadde bakumibwa poliisi baamenye amayumba g’abatuuze abasoba 20 oluvannyuma  lw’omugagga  John Bosco Abamwesiga okugenda mu High Court ng’agamba nti ettaka kwe bali lirye nga lino liwezza obugazi bwa Desimolo 51 .

Abatuuze baasoose kulwanagana n’abawannyondo ekyawalirizza poliisi okukuba amasasi mu banga ne ttiiya gaasi okubangululula  nga bawakanya okumenya amayumba nga tebasasuddwa oluvannyuma embeera yazze mu nteeko

okumenya ne kugenda mu maaso kyokka ebintu byabwe byonna tewali kye baasobola kutaasa ng’ebimu bawannyondo baabibba .

Ismail matovu  nga y’omu gwe baamenyedde enju  yategeezezza nti ettaka lino bbo ng’abatuuze babadde bamaanyi nti  lya kisosonkole Bisase ng’era beewunya nnyo okulaba   nga Abamwesiga yesowololayo nagamba nti ettaka lirye, yagasseko nti bbo ng’abatuuze babaddeko nga ab’ebibanja ng’era Abamwesiga  yabadde alina okusooka okubasasula kyatakoze nasalawo okukozesa amaanyi .

 

Yayongeddeko Abamwesiga azze asibisa abatuuze ab’enjawulo abageezzako okumuwakanya  ng’esonga zatuukako mu kakiiko k’omulamuzi  Bamugemeire kyokka abatuuze ne batafuna bwenkanya nga kati omugagga yabagobaganyizza  ng’era abasinga mu kiseera kino basula wa bweru , yagasseko nti abamu ku batuuze bamaze ku ttaka lino okuva mu 2005 2013 .

OW’ETTAKA AYOGEDDE
Benjamin  Mugisha  omuyambi w’omugagga nga ya kuuma  ettaka  lino yategeezezza nti  abatuuze bano balimba ku ttaka lino tebalinako kakwate kuba ebifo byabwe UNRA yabibasasulamu  okuyisawo oluguudo lwa Northern by pass ne basalawo okwewagamya ku ttala eritali lyabwe nga baakozesa omukisa gwe nsiko eyaliwo .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.