TOP

Sheikh Muzaata atabaganye n’omusomesa gwe yakubye.

By Martin Ndijjo

Added 31st March 2018

Sheikh Nuhu Muzaata Batte akulira Dawa mu ggwanga atabaganye n’omusomesa Ramathan Ssebalamugwe yakuba. bakoze endagaano y’obwa sseruganda ne bakkiriziganyizza buli omu okusonyiwa munne n’okuggyayo emisango buli omu gy’abadde yaggula ku munne.

Muzaatamuso1 703x422

omusomesa, Ramathan Ssebalamu (ku kkono), kkansala Ramathan Lukwago ne Sheikh Muzaata ku ddyo

SHEIKH Nuhu Muzaata Batte akulira Dawa mu ggwanga afunye ku buweerero omusomesa gwe yakubye bw’akirizza okumusonyiwa.

Basoose kumuteekako kazito yeetondere omusomesa ono mu lujjudde olw’okutyoboola eddembe lye n’amukubira mu baana b’asomesa wano Lukwago Ramadhan kkansala ku munisipali y'e Kawempe kwe kuvaayo abatabaganye.

Mu ndagaano y’obwa sseruganda ekoleddwa olunaku lwa leero (March 31) wakati wa Sheikh Muzaata ne Ramathan Ssebalamu omusomesa ku Bilal Islamic Centre e Bwaise,

bakkiriziganyizza buli omu okusonyiwa munne n’okuggyayo emisango buli omu gy’abadde yaggula ku munne.

Okukakasa ebigambo byabwe bagenze mu maaso ga munnamateeka Ukasha Ssekajja owa M/S  Kibuka Musoke & co Advocates eyabawadde empapula kwe batadde emikono.

 ndagaano ekoleddwa wakati wa heikh uzaata ne amathan sebalamu Endagaano ekoleddwa wakati wa Sheikh Muzaata ne Ramathan Ssebalamu.
 

Okusinzira ku ndagaano ekoleddwa eraga nti ne Sheikh Muzaata abadde yaggula omusango ku Ssebalamu oguli ku SD REF; 54/24/03/ 2018 ku poliisi y’e Kawempe ku lunnaku lwe lumu ne Ssebalamu kwe yamuggulako omusango ku fayiro SD:REF 69/24/03/2018 ku poliisi y’emu.

“ Ku olw’Obusiraamu,ku lwa maama wange Hajirah Watuse ne ku lw’obulungi bw’e somero lyaffe Bilal Islamic Centre, Sheikh Muzaata musonyiye” Ssebalamu bwagambye ku ssimu.

Anyonyodde nti okusonyiwa Muzaata kyavudde ku maama we Hajirah Watuse gwe yasoose okwogera naye n’amusaba amusonyiwe nga agamba nti ng’ogyeko okuba omukulembeze mu ddini y’Obusiraamu, Muzaata musomesa wa ddini omulungi azze amugobeera okumala ebbanga n’omuntu ne bya somesa.

Wadde Ssebalamu abadde yasaba okumuliyirira obukadde bw’ensimbi 80 olw’obuvune bwe yatuusibwako ng’agamba nti yakosebwa nnyo mu kifuba n’omugongo olw’agakonde Muzaata ge yamuggunda era ayagala Muzaata agatteko okugenda ku ssomero okumwetondera mu maaso g’abayizi we yamukubira olw’okuswazibwa kwe yamutuusizzaako,

Ssebalamu agambye n’ebya ssente abuvuddeko “Kulaani egamba bwosonyiwa muno ku nsi ne Allah mu Ggulu akusonyiwa ate ekigendererwa mu kino Obusiraamu buleke awo okubeeramu mpalana n’enjawukana”.

Kino we bakituukiddeko nga Muzaata ali mu kattu  olw’abantu ssekinomu ssaako ebibiina n’abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu nabo bayingidde mu nsonga eno nga baagala Muzaata aveeyo yeetondere omusomesa ono mu lujjudde olw’okutyoboola eddembe lye n’amukubira mu baana b’asomesa.

Olukiiko oluddukanya essomero lya Bilal Islamic lwayimiriza Muzaata Batte akulira eby’okubuulira e Kibuli, obutaddamu kusomesa ku ssomero lino wadde okulinnyawo ekigere nga bagamba nti obusiiwuufu bw’empisa bw’atuuseeko tebuweebuula ekitiibwa si kya ssomero lyokka wabula n’Obusiraamu bwonna kubanga lino lye limu ku matendekero agasinga obukulu mu ddiini y’Obusiraamu mu ggwanga

Akulira olukiiko olufuzi olwa Bilal Islamic Centre, Haji Muhammed Kaweesa yaweerezza Muzaata ebbaluwa emugaana okusaaza Juma wiiki eno okutuusa ng’ensonga zino zimaze okugonjoolwa.

Abakulira Bilal baategeezezza nti, beesanze nga tebasobola kukkiriza Muzaata kusaaza baana n’abantu abalala naddala abo abaalabye engeri gye yeeyisizzaamu ng’akuba omusomesa kye baavudde basooka okumuyimiriza ensonga ze zimale okwetegerezebwa.

Kyokka Muzaata yategeezezza Bukedde ku Mmande nti si kituufu nti yakubye omusomesa nga ye atunula butunuzi, ekituufu kiri nti baakubaganye kuba omusomesa yabadde muvubuka era ye Muzaata ye yasinze n’okukosebwa kuba yakubiddwa nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Malawo 220x290

Agula emmaali y’omufu mu bukyamu...

WADDE okufa tteeka naye kino tekikugaana kukola nnyo obeereko ebyobugagga by’olekera abantu bo ssinga Katonda abeera...

Ssenga1 220x290

Njagala kutandika bulamu

NNINA siriimu era mmaze naye emyaka egiwera. Baze yafa ne nsigala n’abaana naye kati mpulira nnina okufuna omusajja...

Img20190117wa0028 220x290

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka...

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....