TOP

Gavt. ekkaanyizza n’abatakisi ku musolo

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2018

Gavt. ekkaanyizza n’abatakisi ku musolo

Jen3 703x422

GAVUMENTI ekoze enkyuukakyuka mu miwendo gya ssente aba takisi bonna mu ggwanga ze bagenda okutandika okusasula n’engeri gye bagenda okuzisasulamu. Mu kafubo akaabaddewo mu maka g’obwapulezidenti e Ntebe ku Lwokusatu, ebitongole bya Gavumenti n’abakulembeze b’ebibiina ebigatta aba takisi mu ggwanga bakiriziganyizza nti buli takisi ekolera mu Kampala n’emiriraano nga tesukka mayiro 21 egenda kusasula ssente 720,000/- omwaka.

Takisi ezikola ku ngendo empanvu okuva mu Kampala okutuuka ku nsalo y’eggwanga zigenda kusasula 840,000/- omwaka. ENSASULA EKYUSIDDWA Ssente zonna bagenda kuzisasula ku akawunta y’ekitongole URA era kiragiddwa kibawe akawunti mu bwangu batandike okussaako ssente.

Eby’okusasula omwezi bigiddwaawo kati ensasula egenda kuba ya mulundi gumu. Olukiiko luno lwetabiddwaamu minisita wa Gavumenti atwaala ebyentambula, Aggry Bagiire, minisita wa Kampala, Beti Kamya, minisita w’obutebenkevu, Elly Tumwine , minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, Tom Butime, minisita w’ensonga z’omunda Jeje Odongo, ssaabawandiisi w’akakiiko akafuga entambula mu ggwanga, Winston Katushabe, omuduumizi wa poliisi Okoth Ochora n’omumyuka we Muzeeyi Sabiiti.

Aba takisi baakiikiriddwa ba ssentebe b’ebibiina byabwe okuli UTRADA ekikulirwa Mustafa Mayambala ne KOTSA ekikulirwa Yasin Ssematimba. Ate bannannyini takisi baakiikiriddwa Mugisha Gaadi, Simon Tumusiime ne Edward Ddumba. ENGABANYA YA SSENTE Ensonda mu kafubo kano zaategeezezza nti KCCA yaggiddwaako obuyinza bw’okusolooza ssente kyokka nti y’egenda okusinga okugabana nga URA emaze okuzikuhhanya.

KCCA egenda kuweebwa 60 ku buli 100 ate Gavumenti ez’ebitundu omuli Disitulikiti zigabane 40 ku buli 100. KU KULONDA KWA TAKISI Olukiiko lwakirizza abatakisi okulonda akakiiko akagenda okukolagana n’ebitongole bya gavumenti eby’enjawulo nga wabaddewo ekyetaagisa kyonna.

Minisita y’ebyentambula, Bagiire baamukirizza akole ku nteekateeka y’okulonda kwa takisi era abakulira ebibiina bagenda kumusisinkana bakkiriziganye kubinaagobererwa. KCCA Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yategeezezza nti bakkiriziganyizza ku nteekateeka ya takisi era buli minisitule yaweereddwa obuvunaanyizibwa bw’egenda okukola. Yagambye nti KCCA erina obuvunaanyizibwa bwayo.

Minisitule y’eby’entambula n’emirimu nayo erina era Gavumenti egenda kufulumya byonna ebyasaliddwaawo mu butongole aba takisi batandike okubissa mu nkola. Kaujju yagambye nti tebakyayagala kusika muguwa ne Bannakampala era ebyatuukiddwaako bisanyusa buli ludda.

Buli kibuga abakoleramu bateekwa okusasula omusolo kuba gwe gukulaakulanya eggwanga. Ensonda zaategeezezza nti abatakisi abaabadde e Ntebe bakkiriziganyizza n’enteekateeka eyatuukiddwaako era baavuddeyo nga balinze lunaku aba URA lwe banaabagamba okutandika okusasula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola...

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola ebya S.6 biranze

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU

Capture 220x290

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde...

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde bana

Abamukubantuabeetabyekumukologwokutongozaenkolayapulezidentieyemyoogaemasaka2 220x290

Bakalaatidde abakulembeze okuggya...

Mu nkola eno abakozi b’emirimo egifaanagana baakwekolamu ebibiina by’obwegassi n’okutereka ensimbi nga bino gavumenti...

Sseka 220x290

Abaatemyetemye ssemaka ne banyaga...

Baamutemyetemye ebiso ne bamusaba ssente zaalina kwe kuzibawa ne mukazi we ne bamuyisaamu ensambaggere olwo ne...