TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dr. Lwanga alabudde Museveni ku bamuwa amawulire amakyamu: Katikkiro amugumizza

Dr. Lwanga alabudde Museveni ku bamuwa amawulire amakyamu: Katikkiro amugumizza

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd April 2018

SSAABASUMBA w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr.Cyprian Kizito Lwanga azzeemu okwatulira bambega ba Pulezidenti Museveni abamuwa olugambo olufu nti bafera mufere okumufumunamu ssente.

Bugu 703x422

Katikkiro wa Buganda Mayiga (ku kkono) ng’abuuza Ssaabasumba oluvannyuma lwa Mmisa e Lubaga. Amuddiridde ye minisita Muyingo ne minisita Nakiwala.

Bino yabyogeredde mu Lutikko ya St. Mary’s e Lubaga ku Ssande mu Mmisa y’okukuza Amazuukira ga Kristu.

Yagambye nti bambega n’abakuumaddembe basaanye okukola omulimu gwabwe mu mazima n’obwesimbu.

“Abantu abakuwa amawulire amakyamu be balabe bo nnamba emu era bw’otoobeegendereze bagenda kukukozesa ensobi bakusuule’’ Ssaabasumba Lwanga bwe yategeezezza.

Yakakasizza pulezidenti Museveni nga bwe batamulinaako buzibu, kyokka n’amujjukiza okukola ekituufu nga bwe yalayira okuweereza Bannayuganda nga yeesigama ku mmoto y’eggwanga egamba nti ‘’Ku bwa Katonda n’ensi yange’’ Yayongedde n’amusaba okwekenneenya abakuumaddembe mu bibiina ebikessi eby’enjawulo okuli ISO ne CMI by’agambye nti bijjudde abalimba abaviiriddeko abantu abatalina musango okuttibwa.

Dr. Lwanga ayogedde ku nzita ez’enjawulo Bannayuganda ze bazze batiibwamu okuli okukubwa amasasi, okubawa obutwa,okubatulugunya n’okubakuba emiggo ate abalala babattisa bigambo. Mujjukire nti teri atajja kufa n’abamu ku bazze batta bannaabwe baafa.

“Gavumenti egamba nti Klezia tegyagala, yeerabidde nti ffe abAamatiza Ppaapa Francis okujja wano mu 2015, Gavumenti n’efuna ekitiibwa, ssinga twali tetugyagala ekyo twandikikoze?”

Yeekokkodde obwavu n’ebbula ly’emirimu ebitawaanya Bannayuganda kyokka gavumenti n’etefaayo ku bintu bigasiza awamu bannansi ng’okuzimba obutale ku nguudo ez’enjawulo.

Lwanga awadde Gavumenti amagezi okukomya okwonoona ssente ng’ezimba ebizimbe by’obutale ebyebbeeyi okugeza Wandegeya akalina emyaliiro omukaaga, nerema okufaayo okuzimbira abantu obutale ku nguudo ez’enjawulo.

Yeebaziza Gavumenti olwebyo by’ekoze, kyokka n’agamba nti obwavu bugenda kutta abantu.

“Neewuunya nnyo bwe nalaba nga kabinenti eyisizza akawumbi kamu okujjanjaba ekirwadde kya kinyeenya mutwe ate n’eyisa obuwumbi 4 okujjanjaba ente obulwadde bwa kalusu” Ssabasumba bye yeewunyiza.

Yawunzise agamba nti empuliziganya ennungi wakati mu bakulembeze ku mitendera egy’enjawulo y’eneeyamba okugonjoola ebiruma abantu ,era gavumenti bw’eba erina ky’eyagala omukulembeze w’eddiini aginnyonnyole emuyite okusinga okutwala ehhambo za bambega.

KATIKKIRO AGUMIZZA SSAABASUMBA LWANGA

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yagumizca Ssaabasumba ku bamutiisatiisa n’agamba nti omukulembeze yenna owamaanyi nga ye ayogerwako era bwe kikolwa kiraga nti wandasi.

Yakubirizza abavubuka okukozesa obulungi emyaka gyabwe egy’ekivubuka nga beetekerateekera obulamu bwabwe obw’omu maaso n’obutaggwaamu ssuubi.

Yayongedde n’abakubiriza okukomya okwetundako ettaka n’okwekuuma nga balamu. Yakunze Obuganda okwetaba mu misinde gy’okukuza Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’omulundi ogwe 63, n’okuwagira okujjanjaba obulwadde bwa Nalubiri.

Minisita omubezi owebyenjigiriza ebyawaggulu, J.C.Muyingo yasiimye abavubuka olw’okwettanira emirimu gya Klezia n’agamba nti gavumenti esiima emirimu egikolebwa Klezia .

Asabye bannayuganda okukozesa obulungi tekinologiya mu bintu ebizimba eggwanga n’okulitwala mu maaso nga basaasanya amawulire amatuufu.

Asabye bannayuganda okukozesa obulungi tekinologiya mu bintu ebizimba eggwanga n’okulitwala mu maaso nga basaasaanya amawulire amatuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...