TOP

Aba Bilal bakyeremye ku Sheikh Muzaata

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd April 2018

ABAKULIRA essomero lya Bilal Islamic Centre e Bwaise bakyagaanyi okukkiriza Sheikh Nuhu Muzaata okuddamu okusomesa n’okusaaza wadde nga yatabaganye n’omusomesa Ramathan Ssebalamu gwe yayisaamu empi mu maaso g’abayizi.

Muzaata703422 703x422

Ssebuliba ne Muzaata

Akulira olukiiko olufuzi olwa Bilal Islamic Centre, Haji Muhammed Kaweesa yagambye nti wadde nga baabiwulidde nti Muzaata yatabaganye ne Ssebalamu, kyokka bo ng’abaddukanya essomero tebannaba kuggyawo kkoligo lye baamuteekako.

Yategeezezza nti Sheikh Muzaata baamuwandiikira ebbaluwa nga bamuyimiriza obutaddamu kusomesa, okusaaza wadde okusaalimbira okumpi n’essomero. Ekiragiro kikyaliwo n’ategeeza nti Muzaata tabeera gyali n’alowooza nti byawedde.

“Okuggyako ng’olukiiko lw’abayima olw’oku ntikko olukulemberwa Sheikh Obed Kamulegeya nga lutudde ne lubeerako kye lukyusa, tetujja kumukkiriza kudda ku Bilal,” Haji Kaweesa bwe yagambye.

Kino kiddiridde Ramadhan Lukwago akiikirira Kawempe 1 ku Munisipaali y’e Kawempe okutabaganya Muzaata ne Ssebalamu.

Mu ndagaano eyakoleddwa ku Lwomukaaga nga March 31, 2018 bakkiriziganyizza buli omu okusonyiwa munne n’okuggya ku poliisi buli omu omusango gwe yali yaloopa munne.

Okukakasa ebigambo byabwe baagenze mu maaso ga munnamateeka Ukasha Ssekajja owa M/S Kibuka Musoke & co Advocates eyabawadde empapula kwe baatadde emikono.

Okusinziira ku ndagaano eyakoleddwa Sheikh Muzaata naye abadde yaggula omusango ku Ssebalamu oguli ku SD REF; 54/24/03/ 2018 ku poliisi y’e Kawempe, ku lunaku lwe lumu ne Ssebalamu kwe yamuggulako omusango ku fayiro SD:REF 69/24/03/2018 ku poliisi y’emu.

Ssebalamu yagambye nti okusonyiwa Muzaata yakikoze tawaliriziddwa muntu yenna, kyokka yakikoze ku lw’obulungi bw’Obusiraamu n’essomero lya Bilal.

“Ku lwa maama wange, Hajirah Watuse ne ku lw’obulungi bw’essomero lyaffe erya Bilal Islamic Centre, Sheikh Muzaata musonyiye,” Ssebalamu bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti maama we yayogedde naye n’amusaba okusonyiwa Muzaata kuba ng’oggyeeko okuba omukulembeze w’Obusiraamu kyokka musomesa mulungi mu ddiini gw’azze agoberera okumala ebbanga.

Obukwakkulizo bwe yali ateereddewo Muzaata okusooka okumwetondera mu maaso g’abayizi be yamukubiramu n’okumuliyirira obukadde bw’ensimbi 80 olw’obuvune bwe yatuusibwako mu kifuba n’omugongo, byonna yagambye yabivuddeko.

Ssebalamu yakikkaatirizza nti tewali muntu yamuwalirizza kusonyiwa Muzaata n’agamba nti; “Kulaani egamba bw’osonyiwa munno ku nsi ne Allah mu Ggulu akusonyiwa.

Njagadde Obusiraamu bulekeraawo okubeeramu empalana n’enjawukana.” Kino we bakituukiddeko nga Muzaata ali mu kattu olw’abantu ssekinoomu n’ebibiina n’abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu nabo okuyingira mu nsonga eno nga baagala Muzaata aveeyo yeetondere omusomesa ono mu lujjudde olw’okutyoboola eddembe lye n’amukubira mu baana b’asomesa nga March 24, 2018.

Muzaata yategeezezza Bukedde ku Mmande nti si kituufu nti yakubye omusomesa nga ye atunula butunuzi, ekituufu kiri nti baakubaganye kuba omusomesa yabadde muvubuka era ye Muzaata ye yasinze n’okukosebwa kuba yakubiddwa nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana