TOP

Bawambye ow’emyaka 9 ne basaba obukadde 4

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd April 2018

Omukazi yasanze omwana Ruth Fatina Nabalanda 9, ng’ava ku ssomero n’amuwerekerako nga yeefudde omusomesa era olwamutuusizza awaka n’ategeeza bazadde be nga bwe yeetaaga okusoma mu ngeri ey’enjawulo ng’ali ne banna abalala abasula ewuwe awaka.

Api 703x422

Mukyala, ssenga wa Nabalanda ow’emyaka 9 gwe baawambye.

Eyeefudde omusomesa yawudiisizza ssenga wa Nabalanda, Sarah Mukyala 46, n’atwala omwana nga baagenze okumumagamaga ng’abadde yeeyita ticha Masituula tebamukubako kimunye.

Ssengaawe ne bba David Ssebide, enkeera baakuze nabo baabadde bakyewuunaganya eky’okukola omuntu naabakubira essimu nabategeeza nga bw’ali n’abantu abaawambye Nabalanda ne babasaba obukadde buna okumubaddiza.

Omwana eyawambiddwa ali ku kyalo Irapa mu ggombolola y’e Bugaya e Buyende nga baamuwambye ku Lwokuna lwa wiiki ewedde.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Busoga North, Michael Kasadha yakakasizza okuwambibwa kw’omwana, n’agattako nti abantu mukaaga b’ataayatudde mannya baakwatiddwa okuyamba ku poliisi mu kunoonyereza kwayo.

ENGERI ‘TICHA’ GYE YALUSE OLUKWE

Mukyala, ng’ono ye Ssenga wa Nabalanda anyumya bwati; Omwana yakomyewo okuva ku ssomero ng’awerekeddwaako omukazi eyeeyise ‘Ticha’ we.

Yategeezezza nga bw’ali omuwala omuwulize, ng’ate mugezi, akwata buli ky’omusomesa.

Yantegeezezza nga bw’alina abaana be yalondamu abakola obulungi ng’ayagala okwongera okubabangula ng’abasomesa ekiro nga ne Nabalanda ayagala abeere nabo.

Kino saakikkirizza kuba nabadde nnina okusooka okubuuza baze. Namugambye tulinde akomeewo ne nfumba caayi ne banywa n’omwana.

Obudde bwe bwatandise okukwata nataddeko amasannyalaze ga sola nga tegaaka kwe kuwa omwana akadomola aleete amafuta.

Omukazi yasigadde atudde kyokka yandabirizza n’awondera omwana n’amussa ku bodaboda n’abulawo naye.

Nakanze kulinda mwana nga si mulaba, okunoonya eyeeyise ‘ticha’ nga naye mu nnyumba taliimu.

Omutima gwatandise okunkuba ne nzizaayo olutambi ku bibaddewo ne nzuula nti kyandiba ng’omukazi ono agenze n’omwana.

Nayise baliraanwa ne tuwondera, okutuuka ku maduuka abatuuze baatutegeezeza nga bwe balabye omukazi n’omwaana nga balinnya bodaboda.

BASABA OBUKADDE BUNA

Ekiro ekyo twasuze tukukunadde nga n’abamu amaziga gatuyitamu era twabukeerezza ku poliisi ne batandika okunoonyereza.

Ku makya g’Olwomukaaga, omuntu yakubidde Ssebidde essimu n’amutegeeza nti y’omu ku balina omwana ne basaba obukadde buna.

Olw’amaze okuzisaba ne batandika okuzibanja nga bakozesa layini endala. Poliisi ng’edu umirwa DPC, Colins Kyasimire yawondedde ennamba zino, era we bwakeeredde ku Mmande ng’abantu mukaaga, bakwatiddwa.

Kasadha yasabye abazadde okufaayo okumanya abasomesa b’abaana baabwe nga ssinga baabadde babamanyi omukazi ono teyandibabuzaabuzizza.

Yasabye abantu abayinza okuba nga balina amawulire agasobola okubatuukirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda

Hot1 220x290

Minisita amazzi gatutabukidde

Minisita amazzi gatutabukidde

Lit1 220x290

Omukazi atulugunya abaana bange...

Omukazi atulugunya abaana bange

Tap15 220x290

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi...

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi okuvuga eggaali