TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bafulumizza alipoota empya ku ndwadde ya siriimu

Bafulumizza alipoota empya ku ndwadde ya siriimu

By Patrick Tumwesigye

Added 3rd April 2018

Dr. Justine Bukenya agamba nti okusinziira ku kunoonyereza kwe baakola, baakizuula nti enkozesa y'akapiira yakendeera olw'okuba nga ebifo ebisinga okubeeramu amasanyu omuli amabaala, n'ebifo ebirala ebisanyukirwamu tebibeeramu bupiira bumala ate awalala nga mu byalo sikyangu kusanga watundibwa kondomu.

Siriimu2 703x422

Prof. Noah Kiwanuka ng'annyonnyola ku byavudde mu kunoonyereza ku kawuka ka siriimu.

ABA Makerere University Schools of Public health banjudde ebyava mu kunoonyereza ku kawuka akaleeta siriimu wakati wa 1987 be 2014.

Okunoonyereza kuno okwawagirwa aba Global Fund kwali kugendereddwaamu okuzuula kiki ekiviiriddeko omuwendo gw'abantu abalina akawuka ka mukenenya okweyongera na kiki ekyetaagisa okukolebwa okuziyiza akawuka kano.

Polof. Noah Kiwanuka eyakulembeddemu banne yategeezezza nti mu myaka gya 1980 abantu abaalina akawuka akaleeta mukenenya baali ebitundu 15 ku 100 wabula we gwatuukira omwaka gwa 2000, abantu abalina akawuka kano baakendeera ne badda ku bitundu 6.3 ku 100 wabula mu 2013, Uganda yaddamu okulangirirwa nga erimu ku mawanga mu Africa agaali gasenseddwa buto obulwadde bwa siriimu.

Polof. Kiwanuka yategeezezza nti okusinziira ku kunoonyereza kwe baakola wakati wa March ne August 2015, bakizudde nti akawuka ka mukenenya kaasinga kwegiriisa nnyo wakati w'omwaka gwa 1992 ne 1994 wabula mu 1996 omuwendo gw'abalina akawuka ne gukendeera oluvannyuma lw'okusomesebwa ku ndwadde nnamutta , engeri y'okugyetangiramu omuli okuba abeesigwa eri abaagalwa baabwe mpozzi n'okukozesa obupiira bu 'kalimpitawa' buyite kondomu.

Kino kyayongerwamu amaanyi ne Pulezidenti wa Uganda, Yoweri Kaguta Museveni bwe yasitukiramu ne yeenyigira butereevu mu kulwanyisa akawuka ka siriimu.

Dr. Justine Bukenya agamba nti okusinziira ku kunoonyereza kwe baakola, baakizuula nti enkozesa ya kondomu yakendeera olw'okuba ng'ebifo ebisinga okubeeramu amasanyu omuli amabbaala, n'ebifo ebirala ebisanyukirwamu tebibeeramu bupiira bumala ate awalala nga mu byalo sikyangu kusanga watundibwa kondomu.

Kuno yagasseeko eky'abantu abamu abatalina ssente zigula kondomu so nga n'abalala bakwatibwa ensonyi okubugula ne basalawo okwegandanga nga tebabwambadde.

Mu alipoota yaabwe, baakizudde nga waliwo n'ekika ky'abantu abakozesa obupiira kyokka ne batasobola kubukozesa mu butuufu ekintu ekyongedde ensaasaana y'akawuka ka mukenenya ne basaba Gavumenti okwongera okutuusa ku bantu kondomu.

Omukolo gw'okwanjula lipoota gwabadde ku Serena mu Kampala, gwetabiddwako abakugu ab'enjawulo abetabye mu kunoonyereza kuno.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...