TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Emmundu mu kisenge kya Faaza ebaggye enviiri ku mitwe!

Emmundu mu kisenge kya Faaza ebaggye enviiri ku mitwe!

By Musasi wa Bukedde

Added 4th April 2018

Mu Mmisa ya Paasika, Ssaabasumba yagambye nti kyamuggya enviiri ku mutwe gye buvuddeko, Faaza yafudde kyokka abaserikale okuva mu kitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI ne bajja ne babategeeza nti baabadde baagala kukeberako mu kisenge ky’omugenzi.

Dr1703422 703x422

Bwe baagezezzaako okubalemesa ne bategeeza nti munda waliyo ebintu bya Gavumenti era olwayingidde, baafulumye n’emmundu ne bagitwala.

Engeri Faaza oyo (amannya galekeddwa) gye yafuna emmundu temanyiddwa, wabula abamu baawunzika mangu nti abadde alina emirimu emirala gy’akola egisukka ku kulyowa emyoyo.

Kigambibwa nti kino kye kimu ku byayongedde okweraliikiriza Ssaabasumba era ebigambo by’omusajja eyamukubidde essimu n’abitwalira ddala ng’ebirimu eggumba.

Ensonda e Lubaga zaategeezezza Bukedde nti eggulo, Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola yagenze e Lubaga n’asisinkana Dr. Lwanga okwogera ku byokwerinda bye.

Olukiiko lwabwe lwawerekeddwa okulambula ebifo byonna okwetoloola Lubaga era nga kino kyakulembeddwa omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano era ne kisalwawo bongere ku bukuumi.

Msgr. Wynand Katende omwogezi wa Klezia mu Ssaza lya Kampala yategeezezza nti ekya poliisi okwongera obukuumi ng’esinziira ku poliisi gye yateeka e Lubaga tebakirinaako buzibu.

Waabaddewo n’enteekateeka poliisi gye yabadde eyagala ey’okuwa bannaddiini abakuumi abalina emmundu kyokka kino ab’e Lubaga ne Namirembe bakyakisimbidde ekkuuli.

Kigambibwa nti entegeka eno baasooka kugezaako kugimatiza Mulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira wabula n’agaana eby’okumussaako omuserikale ow’emmundu ng’ajuliza ebyawandiikibwa nti, “ Katonda bw’atakuuma kibuga n’abakuuma bakuumira bwereere.”

Okuva bannaddiini lwe baawakanya eky’engeri ababaka gye baakwatamu ensonga y’okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti mu December w’omwaka oguwedde, babadde tebakwatagana bulungi ne bannabyabufuzi mu Gavumenti eya wakati.

Mu Mmisa ya Ssekukkulu e Lubaga abantu bwe bahhoola omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi olw’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti; bannabyabufuzi abamu mu NRM baakizza wa Ssaabasumba nti teyakola kimala kukoma ku Bakristu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...