TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyimbi bamuggalidde lwa kutuntuza muganzi we olutatadde

Omuyimbi bamuggalidde lwa kutuntuza muganzi we olutatadde

By Musasi wa Bukedde

Added 4th April 2018

OMUYIMBI w’ennyimba z’eddiini aggaliddwa ku poliisi nga kigambibwa nti abadde agufudde mugano okukunga n’okutulugunya muganzi we.

Yimba 703x422

Muwonge ng’afukaamiridde muganzi we asaba kisonyiwo

Bya STEVEN KIRAGGA

Shafik Muwonge amannyiddwa nga Mr. Digital, ye yaggaliddwa ku poliisi oluvannyuma lwa muganzi we Mariam Nanyanzi okumuloopa n’amulumiriza okumukuba n’omutulugunya ng’ekyasinze okumunyiiza kwe kwasa essimu ye ng’agamba nti abasajja abagikubako babadde baagala kumukwana.

Omuyimbi ono ye yayimba, Katonda omusufu, ekisodde ky’e Makindye n’endala nga zonna zitendereza Katonda.

OMUKAZI AYOGEDDE

Nanyanzi agamba nti; “Twabadde mu nnyumba yaffe e Kawaala, Muwonge n’assaako ennyimbi ng’aziddihhana. Bwe namugambye nti nzikooye akyuseemu, olutalo we lwavudde.

Yatandikidde ku kunvuma olwo n’alumba n’abaabadde mu nnyumba n’atandika okubayombesa.

Ekyavuddemu kwe kukuba buli obwedda amusala mu maaso”. Yategeezezza nti ebbanga ly’amaze ne Muwonge ennaku gyamulabizza tegambika.

Ekisinga okumuluma kwe kumuswaza mu bantu ng’amukuba n’okumuvuma.

Yagambye nti tayinza kumusonyiwa ne bwe yeetonda kuba buli ky’akola akimanyi era akikozesa bujoozi kye kiseera poliisi emukangavvule.

N’agamba nti ekisinga okumunyiiza kwe kuba nga tayagala kukola newankubadde nga bazadde be baagala akole.

Muwonge bwe yatuuse ku poliisi ne yeetondera Nanyanzi kyokka n’atamusonyiwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazike 220x290

Fresh Daddy abawala batandise okumwerippa...

OBWASSEREEBU tebuva wala naye ne Fresh Daddy manya taata wa Fresh Kid bwe yayimbye ‘Mazike’ kati takyava mu bbaala...

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...