TOP

Kenzo ayaniriziddwa nga muzira mu ggwanga

By Martin Ndijjo

Added 5th April 2018

Kenzo ayaniriziddwa nga muzira okuva e Bungereza era asabye gavumenti ateeke ssente mu bayimbi olw’omulimu omulungi gwe bakola okuwanika bendera n’okutunda erinnya lya Uganda.

Eddy1 703x422

Eddy Kenzo ku ddyo ng'alaga Stephan Asiimwe engule ze yawaddeyo eri aba Uganda Museum

OMUYIMBI Eddie Kenzo eyawangudde engule eziri  ku ddaala ly’ensi  yonna bbiri mu wiiki emu bamwanirizza nga muzira mu ggwanga.

Yasoose kuwangula ngule ya ‘Best African entertainer’ mu mpaka za  International Reggae and World music Awards (IRAWMA) ezaabadde mu Amerika  kuno kwe yagasse n’eya sereebu asinga okusanyusa abantu mu Afrika (Favourite African Star) mu mpaka za Nickelodeon Kids’ Choice Awards era okuwangula engule eno yamezze baseerebu be yabadde avuganya nabo okuli; omuyimbi Diamond Platnumz (Tanzania), Davido (Nigeria), Cassper Nyovest (South Africa), omuddusi w’emisinde  Caster Semenya (South Afrika) ssaako omuyimbi ate nga muzannyi wa komedi, Emmanuella (Nigeria).

 ddy enzo ngasala keeki nabakungu okuva mu kitongole kyebyobulambuzi ne ganda useum Eddy Kenzo ng'asala keeki n'abakungu okuva mu kitongole ky'ebyobulambuzi ne Uganda Museum.

 

Ng’akabonero okumusiima n’okumujagulizaako obuwanguzi bwe yatuuseeko ng’omuntu ne Uganda,

Kenzo yatuuse mu ggwanga mu kiro ekikeesezza olwaleero nga  yasoose ku bbaala ya Auto Spa gye yayaaniriziddwa abawagizi abaabadde bamulindiridde okuva eggulo emisana.

Leero ku makya akedde ku  tterekero ly'ebyafaayo (Uganda Museum) e Kamwokya gy’ayaniriziddwa abawagizi abalala nga bakulembeddwaamu, Stephan Asiimwe akulira ekitongole ky’ebyobulambuzi mu ggwanga (Uganda Tourism Board).

 abamu ku bawagizi ba ddy enzo nga bekubya naye ebifaananyi abamu ku bawagizi ba Eddy Kenzo nga bekubya naye ebifaananyi

 

Eno Kenzo awaddeyo engule ze ssatu (3) okuli n’eya BET  ziteekebwe mu Museum ng’ekyobulambuzi n’okusikiriza emigigi emito okwagala n’okuwagira ensike y’okuyimba.

Mu kwogera yasabye gavumenti okuwagira ensike y’okuyimba ng’eteeka ssente mu bayimbi n’okubaako ebintu ebirala by’ebakolera kibazzeemu amaanyi kubanga nabo bakoze kinene okuwanika bendera y’eggwanga n’okutunda Uganda mu nsi z’ebweru.

 enzo nga akuba ekimu ku bivuga bwabadde atuuka ku ganda useum Kenzo nga akuba ekimu ku bivuga bwabadde atuuka ku Uganda Museum

 

“Nsaba gavumenti nga bw’ewagira emizannyo ng’eteekamu ne ssente naffe mu nsike y’okuyimba ekikole. Kyewuunyisa okulaba nga Omutanzania Diamond  Platnumz gwe nawangudde olw’okuba yavuganyizza eweabwe yatuukidde wa Pulezidenti ekitali  ku ffe Bannayuganda,” Kenzo bwe yagambye.

Asiimwe eyakiikiridde minisita w’ebyobulambuzi yeebazizza Kenzo olw’amaanyi g’atadde mu myuziki n’obuwanguzi bw’azze atuukako era ne yeeyama ku lw’ekitongole ky’akulira ne ku lwa minisitule ebatwala okuwagira Kenzo n’abayimbi abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda