TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu Julius Nyanzi tukulaze ebirime ebipya by'osobola okusimba mu nkuba eno n'ofuna kiralu

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu Julius Nyanzi tukulaze ebirime ebipya by'osobola okusimba mu nkuba eno n'ofuna kiralu

By Musasi wa Bukedde

Added 6th April 2018

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu Julius Nyanzi tukulaze ebirime ebipya by'osobola okusimba mu nkuba eno n'ofuna kiralu

Kib2 703x422

Omuti gwa kalittunsi owa Lemon ogukuze.

ENKUBA nga bw’etonnya, waliwo ebintu by’osobola okusimba n’obifunamu ssente ate nga nkuwa akatale. Ng’oggyeeko ebirime nga ennyaanya, kasooli, enva endiirwa n’ebirala osobola okulima ebirala ate mwattu nga tebirina ndwadde zibirumba.

Ekimu ku birime ye kalittunsi owa ‘Lemon’ ono abalimi tebajjumbidde kumulima naye ate avaamu ssente okuva ku makoola, ng’okamulamu butto ate n’omusalamu embaawo. Ekirungi ky’alina taliibwa nkuyege, oluvannyuma lw’omwaka amakoola ogakolamu ensaano, obuwoowo obugoba ensiri, amajaani n’amanda aganuuna obutwa mu mubiri.

 lax nga bwafaanana mu nnimiro Flax’ nga bw’afaanana mu nnimiro.

Enkima bwe ziba zikutawaanya, musimbe ku nnimiro yo akawoowo ke kazigoba. Kalittunsi ono tayonoona ttaka, kalitunsi ayonoona ettaka alina amasanda agoonoona ettaka naye ono tagalina. Bw’omusimba ku myaka musanvu omusalamu embaawo ate taboola ttaka. Bw’oba omulima tolina kweraliikirira kulumbibwa ndwadde.

Mu yiika mugendamu endokwa 1000, osobola okutuguza amakoola oba tusobola okukufunira ekyuma ekimukamulamu butto. Kyokka mu mabanga ga kalittunsi simbamu obusigo bwa ‘Flax’ buno babukolamu n’engoye za lineni Abanigeria ze batera okwambala. Kkiro yaabwo ngigula 20,000/-. Mu yiika osimbamu akakebe kamu akagula 10,000/- naye osobola okukungulamu kkiro 300, akatale nkalina.

Bw’oba alina olusuku nga mulimu amabanga, simbamu obusigo buno, okusinga okulimamu omuddo nga tewali kirimu. Flax akulira emyezi ena, kyokka olina okumukungula nga yaakatandika okwengera obutakunkumuka mu nnimiro. Obusigo buno buyamba mu kwogiwaza obwongo, kasala omugejjo n’ebirala.

 

Omulimi wa leero yandibadde alowooleza mu bintu by’alima ng’asobola okubigattako omutindo. Ebirime ebirala by’osobola okulima kuliko Stevia, mu yiika weetaaga endokwa 4000 naye yeetaaga kulimira ku bukata ate ayagala nnyo ekigimusa kya nakavundira.

Mu kiseera kino kkiro egula 30,000/- ate asobola okuwangaala okumala emyaka 5 n’okusoba. Simba akakomera omukamulwa butto n’ebirala. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda

Deb1 220x290

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa...

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa