TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab’e Bukono - Namutumba banenyezza Kadaga okubatabula

Ab’e Bukono - Namutumba banenyezza Kadaga okubatabula

By Kizito Musoke

Added 7th April 2018

AB’OLULYO olulangira n’abataka mu ssaza ly’e Bukono mu disitulikiti y’e Namutumba banenyezza Sipiika Kadaga olw’okwetumiikiriza n’atuuza omulangira Godfrey Mutyaba nga tagoberedde mitendera mituufu.

Genda 703x422

Munobwa(ku kkono) addiriddwa Mukunya, Naiogobya ne Mutyaba mu lukiiko. Mu katono ye Sipiika Rebecca Kadaga

Mu lukiiko lwe baatuuzizza mu maka ga muzeeyi Baite Munobwa, omu ku beebuuzibwako ku nsonga ez’enjawulo mu Busoga ku kyalo Ivukula e Namutumba, baalaze okutya n’okwennyamira olw’enjawukana eyabalukawo mu lulyo olulangira n’ekyaddirira butakkaanya wakati w’omubaka Persis Namuganza ne Sipiika Rebecca Kadaga.

Milton Mukunya Waako, Ssaabalangira w’e Bukono yategeezezza nti okuva omukolo gw’okulayiza Mutyaba gubeerawo nga February 27, 2018 kyatabula olulyo olulangira nga mu kiseera kino bangi tebakyabuuzaganya.

Yalaze nti abalangira balina emitendera emituufu gye bayitamu okufuna omusika omutuufu wabula beewuunya Kadaga munnabyabufuzi okuvaayo n’alayiza Mutyaba mu ngeri etegoberera nnono na byabuwangwa.

Omukolo guno yagambye ye kanaaluzaala eyaleetera n’obutakkaanya obuliwo mu kiseera kino wakati wa Namuganza ne Kadaga. Yagambye nti Namuganza okuvaayo ne yeemulugunya ku nsonga entuufu kyamuleetera abantu abamu okumulaba obubi.

Abataka baasabye ababaka b’e Busoga okukola ku bizibu ebinyiga Obwakyabazinga okusinga okumala obudde nga beewera okulemesa Namuganza okutambula, wadde nga bakimanyi bulungi nti lino eddembe limuweebwa ssemateeka w’eggwanga.

Ate Samuel Naigobya, Ssaabalangira mu ssaza ly’e Bulamogi naye eyeetabye mu lukiiko luno yalaze okunyolwa olwa Sipiika Kadaga okutandika okutabangula obukulembeze mu masaza agenjawulo.

Baavumiridde n’omubaka Mariam Naigaga (Mukazi/Namutumba) ne Paul Akamba (Busiki) olw’okulwanyisa Namuganza ali ku kituufu.

OBUBAKA NAMUGANZA BWE YAWEEREZA NAIGAGA

Omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Namutumba, Mariam Naigaga bwe yabadde mu kakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa akabuuliriza ku butakkaanya obuliwo wakati wa Namuganza ne Kadaga yabalaze obubaka bwe yafuna ku ssimu okuva ewa Namuganza.

Obubaka bwabadde buvuma Naigaga nga Namuganza amulangira okubeera omufere, omubbi, omwenzi era atamanyi kwogera Lungereza.

Obubaka mu bujjuvu bwabadde bugamba nti; “muyaaye ggwe, manya eddaala kw’oli kuba y’ensonga lwaki ogenda ofera ku bantu ssente.

Ogezangako n’oddayo e Bukono n’onjogerako. Bw’aba nga siriimu akulalusizza osaana ofune eddagala ettuufu kuba kirabika ly’okozesa kkyaamu.

Bang'amba nti olina obulenzi bw’oba nabwo kuno kwe wagatta n’okwebaka ne kojjaawo kisiraani gwe. N’olungereza oyogera lwa bitege.”

Obubaka buno bwalese ababaka babunyeenyeza mutwe, kuba eyabuleese yalaze nti bwamuweerezebwa Namuganza ku ssimu ye.

Akakiiko k’ebyempisa kaalagira omumyuka wa Sipiika Jacoub Oulanyah okubuuliriza ku nsibuko y’obutakkaanya obuliwo wakati wa Namuganza ne Kadaga.

Namuganza ye yasooka okugenda mu kakiiko kano n’alumiriza Kadaga okutabangula famire ye bwe yasalawo okutuuza omulangira w’e Bukono, Godfrey Mutyaba.

Namuganza takkiriza nti omulangira Gabula Nadiope IV ye Kyabazinga wa Busoga.

Agamba nti waliwo omusango ogwawaabwa mu kkooti nga bamuwakanya era tegunnnasalibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...