TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Sijja kukkiriza balemesa kulwanyisa musujja gwa nsiri’

‘Sijja kukkiriza balemesa kulwanyisa musujja gwa nsiri’

By STEVEN MUSOKE

Added 7th April 2018

PULEZIDENTI Museveni atongozza akakiiko ka Palamenti akagenda okulwanyisa omusujja gw’ensiri n’alabula abakozi ba minisitule y’ebyobulamu okukomya obugayaavu nga bakola emirimu gyabwe.

Kako 703x422

Pulezidenti Museveni (ataddeko enkofiira) ng’ali n’ababaka ba Palamenti.

Omukolo gwabadde mu luggya lwa Palamenti ku Lwokuna nga gwetabidwaako ebitongole byakuno n’eb’yebweru ebiri ku mulimu gw’okulwanyisa omusujja gw’ensiri.

Pulezidenti yagambye nti, waliwo endwadde eziremedde mu bantu lwa bugayaavu obuli mu minisitule y’ebyobulamu n’asuubiza okukola ku nsonga eno.

‘Tusobodde okulwanyisa endwadde zi nnamutta eziwerera ddala 13 nga poliyo ate omusujja oguleetebwa ensiri, obusiri gutulema gutya?”, Museveni bwe yabuuzizza.

Okusooka amyuka wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah yasabye amaanyi mu kulwanyisa omusujja gunno basinge kugassa ku kulwanyisa ensiri kuba ze ziguleeta.

‘Ffena tumanyi nti ensiri ze zireeta omusujja, lwaki mutya okwogera obutereevu nti tulwanyise ensiri sso si musujja kuba okuziyiza kusinga okuwonya, Oulanyah bwe yagambye.

Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Aceng yagambye nti Gavumenti ekoze kinene okulwanyisa omusujja guno ng’eyita mu kugaba obutimba n’okufuuyira mu mayumba kyokka n’agamba nti waliwo abantu abatafaayo nga tebamanyi kabi kali mu musujja guno.

Yagambye nti abantu 15 buli lunaku be bafa omusujja gw’ensiri n’asaba abantu bonna okwegatta ku kaweefube w’okulaba ng’omusujja guggwaawo mu ggwanga.

Museveni yabalagidde essira lissibwe ku butimba bw’ensiri n’okufuuyira mu mayumba kuba kino kijja kuyamba okulwanyisa obulwadde buno.

Wabula Pulezidenti yeeweredde ababaka abagenda babungeesa ehhambo nga bavumirira enteekateeka za Gavumenti nga balameseddwa okweyambisa enteekateeka ezissibwawo okulwanyisa obulwadde buno.

“Ababaka abamu mugenda musiga obulimba mu bantu olw’ebigendererwa byammwe ng’abantu, mubuzaabuza Bannayuganda ne bava ku mulamwa, hhenda kukwata nzigalire omuntu yenna anaasangibwa ng’asiga obulimba mu bantu”, bwe yategeezezza.

Yawagidde eky’ababaka kye baasabye wabeerewo ensawo enzibizi eneeyambisibwa mu kulwanyisa omusujja guno gye baatuumye ‘Malaria Fund’.

Kyokka yabasaba okukozesa ssente zino ku bintu Gavumenti bye tanaba kukola bave kwebyo ebikoleddwa ng’okugabira abantu obutimba bw’ensiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima