TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okuwulira emisango gya 'Togikwato' e Mbale kutandise na bbugumu

Okuwulira emisango gya 'Togikwato' e Mbale kutandise na bbugumu

By Musasi wa Bukedde

Added 9th April 2018

OKUWULIRA emisango gya 'Togikwatako' e Mbale kutandiise na bbugumu balooya bwe basabye kkooti eyite Sipiika Rebecca Kadaga yeeyanjule mu kkooti babeeko bye bamukunya.

Whatsappimage20180409at112113am 703x422

BYA ALICE NAMUTEBI

OKUWULIRA emisango gya 'Togikwatako' e Mbale kutandiise na bbugumu balooya bwe basabye kkooti eyite Sipiika Rebecca Kadaga yeeyanjule mu kkooti babeeko bye bamukunya.

Male Mabiriizi ng’ono y’omu ku baatwala omusango mu kkooti ategeezezza abalamuzi nti kigya kuba kyabulyazamaanya obutayita Sipiika Kadaga kubaako bibuuzo bye bamusoya nga kuba ye yaviirako etteeka lino lye bawakkanya okuteesebwako mu Palamenti n’okuyisibwa bwe yali akubiriza Palamenti.

Abalala be baagala bayitibwe basoyezebwe ebibuuzo ye aduumira amagye, Gen. David Muhoozi, akulira abakozi ba Gavumenti John Mitala, amyuka eggwanika ly'eggwanga Keith Muhakanizi, omuduumizi wa Poliisi mu Kampala, Frank Mwesigwa, akulira ebikwekweto mu poliisi, Asuma Mugyenyi, clerk wa Palamenti, Jane Kibirigge, omubaka Moses Balyeku n'akulira eby’okwerinda mu Palamenti .

Wabula amyuka Ssabawolereza wa Gavumenti, Mweisgwa Rukutana akisimbidde ekkuuli n'asaba kkooti egaane okubayita kubanga obujulizi bwabwe baabuteeka mu buwandiike era nga tewali kyamaanyi kye bajja kwongerako singa baba bayitiddwa era kati abantu bonna kye balinda be balamuzi okusalawo.

 

Kkooti era egobye emisango 4 olw'abagiwaaba obutabaawo mu kkooti ate ne batatuma balooya baabwe kyokka nga baategeezebwa ku lunaku kkooti lw'egenda okutuula.

Emisango egigobeddwa kuliko ogwa Dr. Abed Bwanika, ogwa Miria Matembe ng’ali wamu n’ekibiina kya Center of Constitutional Governance n’ogwa Benjamin Alipanga.

 

Omusango guno guwulirwa abalamuzi 5 abakulembeddwa; omuyuka wa Ssaabalamuzi; Alfonse Owinyi-Dollo, Remmy Kasule, Kenneth Kakuru, Cheborion Barishaki ne Elizabeth Musoke.

Nga kkooti etandiika, Mabiriizi asoose kukola katembe mu kkooti bw'asoose okulemera mu ku ntebe awatuulibwa balooya abalamuzi ne bamugobako kyokka n'asooka n'agaana ng'agamba nti tewali tteeka limugaana kutuula w'ayagala kubanga naye yawaaba omusango ng'abalala.

 

Oluvanyuma Mabiriizi apondoose abalamuzi bwe bakangudde ku ddoboozi n'ava ku ntebe ng'atolotooma n'atuula mu kaguli awasimbibwa abasibe.

Kkooti egenda kumala wiiki nnamba e Mbale ng'ewulira emisango gya 'Togikwatako'

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...