TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Putin agezesezza mizayiro amawanga 4 ne gatya

Putin agezesezza mizayiro amawanga 4 ne gatya

By Musasi wa Bukedde

Added 9th April 2018

EMMEERI enwanyi n’ebyokulwanyisa eby’amaanyi Pulezidenti Vladimir Putin by’akuluumuludde wakati mu bunkenke obuliwo wakati wa Russia ne Bungereza n'amawanga ga Bulaaya amalala bitiisizza amawanga ga Bulaaya okuli Sweden, Poland ne Latvia ne zeekubira enduulu mu mukago gwa NATO.

Yoga 703x422

Emu ku mmeeri ya Russia ng'ekanyuga emizinga.

Ekisinze okutiisa Poland, Sweden ne Latvia ze bbomu, emizinga ne mizayiro za Russia ebyesooleza mu bwengula bw’oguyanja Baltic Sea okumpi n’ensalo z’amawanga gaabwe nga Russia egezesa 'layivu’ ebyokulwanyisa byayo Pulezidenti Putin yayungudde emmeeri enwanyi mukaaga ez’omutawaana, ezimu kw’ezo Russia z’esinga okwesiga ne zigenda mu guyanja gwa Basltic Sea ne zitandika okwegezaamu.

Ku mmeeri z’ayungudde, Putin agasseeko n’abajaasi abatendeke 75,000 okwetaba mu kwegezaamu kuno okwatandise ku Lwomukaagai nga waakayita ennaku mbale nga Pulezidenti Donald Trump owa Amerika abakulembeze owa, Latvia, Estonia ne Lithuania n’abakakasa nti, Russia terina ky’eyinza kubakola nga Amerika w’eri.

Okwegezaamu kuno Russia ekitadde wakati wa Sweden, Poland ne Latvia kyokka nga kuli kumpi nnyo n’ekibuga kya Sweden ekya Karlskrona. Sweden ye yasoose okwekubira enduulu mu mukago gwa NATO ng’esaba Amerika, Bungereza, Yitale, Bufaransa n’amawanga amalala abanene okugamba ku Russia.

Putin okutandika okugezesa ebyokulwanyisa bye kwongedde obunkenke mu Bulaaya olw’obutakkaanya Russia bw’erina ne Bungereza oluvannyuma lwa munnansi wa Russia Sergei Viktorovich Skripal 66 ne muwala we ow’emyaka 33 okubeegezaamu ne babawa obutwa ku ttaka lya Bungereza.

Entabwe yava ku Katikkiro wa Bungereza May Theresa okulumiriza Putin nti yayungulidde Skripal ne muwala we abatemu abaabadde baagala okubattisa obutwa mu ngeri y'emu nga bwe bazze batemula buli muntu asoowagana ne Putin.

Skripal yali mbega ow’ekitongole kya Russia ekikessi ekya KGB kyokka ng’abegera ne Bungereza era Theresa alumiriza nti Putin ye yatuma abaali bagezaako okumumiza omusu.

Awo Katikkiro Theresa we yasinziira n’assa ku nninga Putin nti ateekwa okumubuulira abaali basse omusajja era ekyaddiridde ne Bungereza okugoba abakungu ba Russia ne Russia n’egoba abakungu ba Bungereza olwo n’amawanga ag’omu Bulaaya ne Amerika ne gagoba abakungu ba Russia abateeberezebwa okubeera ba mbega.

Russia okugezesa ebyokulwanyisa byayo kiddiridde Putin okuyungula emmeeri enwanyi okwetoloola agayanja aganene mu Bulaaya okuli Mediterranean, Black Sea, Baltic sea mu ngeri ey’okulaga eryaanyi amawanga ag’omukago gwa NATO ageegasse ku Bungereza eri ku mbiranye ne Russia mu kiseera kino.

Omukungu wa minisitule ya Russia ey’ebyokwerinda, Nikolai Patrushev yategeezezza nti, okwegezaamu kuno kwakumala ennaku nnya nga kulimu emmeeri 11 okuli enwanyi ne lubbira nga zaseeyeyezza okuva ku mwalo ogwa Kaliningrad wakati Lithuania ne Poland ne zigumba mu kifo ekiyitibwa Baltiysk, Nikolai Patrushev yategeezezza nti ekigendererwa ekikulu eky’okwegezaamu kuno y’engeri Russia gy’esobola okukuuma ensalo n’obwengula bwayo singa olutalo lubalukawo wakati waayo ne Bungereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...

Letter002pix 220x290

Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi...

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu...

Tega 220x290

Bazzukulu ba Ssekabaka Ssuuna batabuse...

EBY’ETTAKA ly’e Lubowa ku lw’e Ntebe gavumenti ly’eyagala okuwa yinvesita azimbeko eddwaaliro ery’omulembe byongedde...

Kakiiko 220x290

Abaana ba Muteesa bongedde bwiino...

OMULANGIRA David Wassajja azzeeyo mu kakiiko k’Omulamuzi Catherine Bamugemereire ku by'ettaka ly’e Mutungo eryali...

Gaba 220x290

Ssaabayaga El Chapo afunye essuubi...

SSAABAYAGA wa Mexico ow’omutawaana eyasingisiddwa emisango mu kkooti y’e New York mu Amerika nga kati alindiridde...