TOP

Mbabali bamutikkidde diguli y'Obwadokita

By Ahmed Mukiibi

Added 9th April 2018

OMUBAKA wa Bukoto South, Haji Muyanja Mbabali atikkiddwa diguli eyookusatu (PhD) etali nsomerere nga emuweereddwa yunivasite eya Commonwealth University-London Graduate School.

Maba 703x422

Dr. Mbabali (owookubiri ku kkono) ng'ali n'abalala bwe baafunye diguli eno.

Diguli eno eyitibwa ‘Honorary Doctorate Degree in Leadership and Management’, omubaka Haji Mbabali emuweereddwa n’abantu abalala 75 okuli ne Bannayuganda bataano abaasunsuddwa Yunivasire ya Commonwealth University - London Graduate School.

Bannayuganda abalala abaatikkiddwa diguli eno kuliko; omulamuzi Gladys Nakibuule Kisekka, omubaka wa Mbarara Munisipaali Michael Tusiime ne Dayirekita wa East African Civil Aviation Academy Ronald Turyamubona.

Omukolo ogw’amatikkira gaabwe bonna abantu 75 gwakuliddwa Cansala wa Yunivasite ya Commonwealth University, Polof. Michael Addison nga gwabadde mu lukuhhaana olwa Dubai Leadership Summit e Dubai ku Lwokutaano.

Dr. Mbabali eyabadde ne mukyala we Hajati Mariam Najjemba yategeezezza nti, awulira essanyu lya nsusso okubeera nga yalondeddwa okubeera omu ku bantu bataano bokka okuva mu Uganda n’abantu 75 mu nsi yonna okuweebwa ekitiibwa ekya diguli eya PhD.

Yagambye obuweereza bwe ng’omubaka wa Palamenti n’emirimu emirala egy’enkulaalakuna ly’abantu ne Uganda gye gimutadde ku mutendera gw'atuuseeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...