TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Commonwealth University etikidde Omubaka Muyanja Mbabali diguli

Commonwealth University etikidde Omubaka Muyanja Mbabali diguli

By Ahmed Mukiibi

Added 9th April 2018

Commonwealth University etikidde Omubaka Muyanja Mbabali diguli

Mba1 703x422

Hajji Muyanja nga yaakatikkirwa ate ku ddyo ye mukyala we Hajati Mariam Najjemba

OMUBAKA wa Bukoto South, Haji Muyanja Mbabali  atikkiddwa ddiguli ey’okusatu  etali nsomerere emuweereddwa  Yunivasite  eya Commonwealth University-London Graduate school.
 
Diguli eno eyitibwa ‘Honorary Doctorate Degree in Leadership and Management’ ng'emuweereddwa n’abantu abalala 75 okuli ne Bannayuganda bataano.
 ajji babali ne banne nga baakamala okutikkirwa Hajji Mbabali ne banne nga baakamala okutikkirwa

Bannayuganda abalala  abatikiddwa diguli eno kuliko; Omulamuzi Gladys Nakibuule Kisekka, Omubaka wa Mbarara Munisupaali Michael Tusiime,  Dayirekita wa East African Civil Aviation Academy   Ronald Turyamubona ne Ronald Segawa.

 
Omukolo Cansala wa Yunivasite ya Commonwealth University, Polof. Michael Addison yeyakuliddemu omukolo guno ogwabadde mu lukung’aana lwa Dubai Leadership Summit e Dubai  ku Lwokutaano

Dr. Mbabali  eyabadde ne mukyala we  Hajati Mariam Najjemba , eyali Minisita omubeezi ow’ebyamayumba, yategeezezza nti awulira essanyu lyansusso okubeera nga yalondeddwa okubeera omu ku bantu abataano bokka okuva mu Uganda n’abantu 75 mu nsi yonna okuweebwa ekitiibwa ekya diguli eya PhD.

Yagambye obuweereza bwe  ng’omubaka wa Palamenti n’emirimu emirala egy’enkulaalakuna y’abantu ne Uganda gye gimutadde ku mutendera gwatuseeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...