TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmengo yeetonze ku ky'abaserikale abakuuma Kabaka abaakubye bannamawulire

Mmengo yeetonze ku ky'abaserikale abakuuma Kabaka abaakubye bannamawulire

By Dickson Kulumba

Added 9th April 2018

MMENGO evuddeyo ne yeetonda ku ngeri abaserikale abakuuma Kabaka gye baakuttemu bannamawulire mu Lubiri Obuganda bwe bwabadde bwetabye mu misinde gy’amazaalibwa ge ku lw'e Ssande mwe baabakubidde n’okubasikaasikanya nga bakola emirimu gyabwe.

Whatsappimage20180408at93605pm 703x422

Kino kiddiridde ebifaananyi ebyafulumye ku mitimbagano gya yintanenti nga biraga engeri munnamawulire Denis Kabugo akolera ttivvi emu bwe yabadde agezaako okukwata Kabaka eyabadde ayambuka waggulu mu weema ye oluvannyuma lw’okusimbula abaddusi.

Minisita w’amawulire era omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba mu kiwandiiko kye yafulumizza ku Ssande olw’eggulo yategeezezza nti enkola eno ey'okutulugunya bannamawulire si nkola ya Bwakabaka era evumirirwa, n'asuubiza nti waliwo ekigenda okukolebwawo okugonjoola embeera eno.

“Tufunye amawulire agatali malungi n’akamu nti abamu ku bannamawulire omuli n’abo abakolera ebitongole by’Obwakabaka eby’enjawulo baakubiddwa oba ne basindikibwasindikibwa abakuumi abamu nga basaka amawulire mu misinde gino.

Enkola ey’okubonyabonya bannamawulire nga bamalibwako eddebe lyabwe si nkola ntongole ya Bwakabaka era tugivumirira ne ssekuvumirira yenna. Abakuumi bano abakoze empisa eyo etali yaabugunjufu baagikoze nga bbo so si ku lwa Bwakabaka, Ssaabasajja Kabaka oba Katikkiro,” Ekiwandiiko kya Minisita Kiyimba bwe kyasomye.

Kiyimba yayongedde n'asaba bannamawulire okubategeezaanga mu bwangu kyonna ekibeera kibatuuseeko nga baakafuna obuzibu okusobola okubusalira amagezi kubanga Obwakabaka bussa ekitiibwa mu mirimu egikolebwa bannamawulire mu kutwala Obwakabaka ku ntikko.

“Tugenda kukola okunoonyereza ku nsonga eno era twongere okulambika abakuumi engeri gye basobola okukola omulimo gwabe ng’ate tebalinnyiridde ddembe lya bannamawulire. Twetondera abo bonna abaakoseddwa leero era tugenda kukola ekyo kyonna ekisoboka okulaba nti tumalawo obuzibu buno. Tukubirizza bannamawulire bonna baatutegeezenga mu bwangu bwe wabaawo ensonga yonna etateredde oba ebalemesa okola emirimu gyaabwe obulungi,” Kiyimba bweyagaseeko ng’ayogera ku kikolwa kino ekyalabiza Obwakabaka obubi.

Ku lwa June 17,2017 Kabaka Ronald Mutebi II bweyali ku Beatrice SS e Kyankwanzi yalagira abakuumi be bano bakomye eky’okutulugunya abantu be ababeera bazze ku mikolo okumulaba nga bwebabeera tebasobola kukyebeera, babakwate mpola.

Kino kyaddirira abakuumi bano okukasukka Ssentebe wa Disitulikiti y’e Kiboga saako n’abaami ba Kabaka mu mbeera eyatyoboola ekitiibwa kyaabwe era bano bwebafuna omukisa ogusisinkana Kabaka bakimunyonyola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...