TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddy Yawe alaze ebimulemesezza okuyimbira mu bandi ya Afrigo

Eddy Yawe alaze ebimulemesezza okuyimbira mu bandi ya Afrigo

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2018

Eddy Yawe alaze ebimulemesezza okuyimbira mu bandi ya Afrigo

Kob2 703x422

Eddy Yawe

OMUYIMBI Eddy Yawe eyayimba ‘Tukiggale’ alaze ebimulemesezza okuyimbira mu Afrigo Band ekimuwalirizza okugivaamu. Yawe amaze ebbanga nga talabikako mu bivvulu bya Afrigo band kuyimba. Kino kyeyolese ne mu bivvulu bya Paasika ne wiiki ewedde abawagizi abanyumirwa ennyimba ze bwe baamulindiridde bbandi gye yabadde nga tebamulaba ne batandika okwebuuza ekyamutuukako ate abalala nti yandiba nga yayabulidde bbandi.

YAWE AYOGEDDE LWAKI YAVUDDEYO

Yawe amanyiddwa okuggala ebivvulu bya bbandi eno olw’ennyimba ze ezifuukuula abadigize okuli ‘Mu Kayembe n’empya nga ‘Tukiggale’ bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza eky’okuva mu Afrigo kyokka agamba kino kivudde ku mirimu emingi gy’alina nga takyalina budde bwa bandi.

“Si kituufu nti natabuse ne bakama bange mu bandi oba bangobye ng’abantu abalala bwe boogera wabula navuddeyo mu bulungi ate kino nakikoze olw’emirimu emingi gye nnina nga sikyafuna budde bwa bbandi ate ekirala siri mmemba wa bbandi. Nnina ennyimba empya ze nkolako.

Okuva ‘Tukiggale’ lwe yakwatayo nfuna emirimu mingi. Nnina emirimu gye nkola ku situdiyo yange ate mu kiseera kye kimu ndi musomesa ku Yunivasite ya RNTC ey’omu Budaaki kale bwe weetegereza obulungi sikyasobola kufuna budde bwa Afrigo.”

Yawe agamba amaze ebivvulu kati kkumi nga tayimba na Afrigo bwe yabuuziddwa lwaki tafuna budde bwa bbandi ate ng’ayimba obw’omu mu bivvulu ebirala na ddi lw’asuubira okuddamu okuyimba ne Afrigo, yazzeemu nti olw’okuba si mmemba wa bandi kye kiseera okwongera okusitula erinnya lye ng’omuyimbi ayimba obw’omu era talowooza ku kya kuddayo mu Afrigo.

Yawadde eky’okulabirako eky’olukalala lw’ebivvulu by’alina wano mu ggwanga n’ebweru ebitambulira ddala okutuuka mu December gye bamupangisizza okuyimba obw’omu nga n’ebimu biriwo mu kiseera kye kimu n’ebya Afrigo.

“Mu June ηηenda Canada ate mu October ngenda kuyimba mu Amerika mu lukuηηaana lwa UNAA mu kiseera kino ne Afrigo ng’eri mu Amerika kyokka bbo bagenda kuyimba mu lukung’aana olulala olwa UNNA Causes.”

Bwe yabuuziddwa oba anaamalako okuyimba obw’omu nga tali na bbandi abantu gye bamumanyidde yazzeemu nti “okulekera awo okukola ne Afrigo sikikoze mu bubi oba nti bangobye wabula njagala kwemalira ku byange ate ekirungi nnina ‘work’ (ategeeza ennyimba ennungi) nga zonna ennyimba zange nziyiiyiza n’okuzikola ng’omuntu so ssi nga Afrigo kale sisuubira mbeera yonna mbi”

YAWE SI MMEMBA WA AFRIGO- WASULA James Wasula omu ba dayirekita ba bbandi eno eyasangiddwa mu ofi isi ye e Kamwokya yawakanyiza ekya Yawe okuva mu bandi n’agamba nti si mmemba wa bbandi kale tasobola kuva mu bandi mw’atali. “Aboogera ekyo kirabika tebamanyi bakozi ba bandi abajjuvu (bammemba).

Yawe akola bukozi na bandi (Freelance) era waddembe okutambulamu n’abaako ebibye ebirala by’akola kasita atutegeezezza era waddembe okukomawo ekiseera kyonna. Yaηηamba nti alina emirimu egimukutte era y’ensonga lwaki abadde takyayimba na bbandi ate ono si y’asoose okubeera mu mbeera eno; Sammy Kasule ne Frank Mbalire nabo baaliko mu mbeera eno.” Wasula yamenye abamu ku bammemba ba bbandi era mu bano kuliko; Moses Matovu, Joanita Kawalya Eddy Ganja, Rachel Magola, Charlse Busulwa, Julius Nshaba, Joe Tabula Dan Kagwa, Sarah Tendo Namiyonga, Herman Ssewanyana, Peter Bazanye (Rude Boy Devoh), Abby Katongo, Said Kasule.

Moses Matovu bwe twamutuukiridde yagambye nti “Ensonga za Yawe zimubuuze ye kennyini y’azimanyi nze sizimanyi.” Ate Okusinziira ku Elimia Masembe Carol Nantongo bwe baasooka okuyimba ‘Tukiggale” ne Eddy Yawe bwe yabuuziddwa ku by’okusigula Yawe n’amuggya mu Afrigo yagambye nti oluusi bayimba bombi ku mikolo ssinga babeera basasuddwa okuyimbira awamu kyokka emirundi egisinga ennaku zino ye Nantongo atera kuyimba yekka nga ne Yawe ayimba ku lulwe.

Gye buvuddeko Yawe abadde ayimba ne mwannyina Lian Ursulah Namawejje oluyimba lwa ‘Tukiggale” nga kino oluusi kiva ku butakwatagana na Nantongo nga buli omu alina entegeka z’okuyimba ez’enjawulo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.