TOP
  • Home
  • Amawulire
  • DP esiimye Obwakabaka bwa Buganda: Etandise okuperereza Bobi Wine

DP esiimye Obwakabaka bwa Buganda: Etandise okuperereza Bobi Wine

By Muwanga Kakooza

Added 10th April 2018

DP etegeezezza nti eyogeraganya n’abanene b’oludda oluvuganya Gavumenti okuli Bobi Wine, Dr. Kiiza Besigye, Loodi meeya Erias Lukwago n’abalala okulaba engeri gye bayinza okukwataganamu okugisigiukulula.

Mm2 703x422

Pulezidenti wa DP Nobert Mao ng’ayogera mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala.

Bino Pulezidenti wa DP  Nobert Mao y’abitegeezezza n’asiima Obwakabaka bwa Buganda olw’okuvaayo ne buwagira entegeka z’okutumbula eby’obulamu ng’okulwanyisa ‘siko seero’ n’ekikulukuto nga bayita  mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka era n’ategeezezza nti ekibiina kiri wamu n’Obuganda mu kujaguza  amazaalibwa ga Kabaka aganaaba  e Buddu.

Mao abadde ayogera eri bannamawulire era  enenyezza  gavumenti olw’emisolo emipya gy’etegeka okuleeta ku nkozesa y’amasimu ne kompyuta  gy’egamba nti tegyetaagisa  ky’erina okukola kwe kukendeeza ku bungi bw’abakungu b’esasaanyizaako ensimbi ng’ababaka ba Palamenti ne Baminisita.

Ku nkolagana y’ekibiina n’ab’oludda oluvuganya gavumenti, Mao agambye  nti atandise okwogeraganya n’abanene baalwo okuli abakungu ba  FDC nga Col. Kiiza Besigye, Maj. Gen. Girigooli Mugisha Muntu, pulezidenti wa FDC, Patrick Amuriat, n’abalala nga Loodi Meeya Erias Lukwago, omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine okulaba engeri gye bayinza okussa akazito ku gavumenti bagisuuze obuyinza.

Mao era yategeezezza nti musanyufu okulaba ng’abamu ku baali beewagudde ku DP ng’aba Ssuubi n’abalala batandise okudda eka.

Kyokka yalumbye gavumenti olw’okugezaako okulemesa ekibiina okutegeka ensisinkano y’abaaliko mu kiwayi ky’abavubuka ba DP ekya UYD n’agamba nti bagenda kusisinkana ssaabaduumizi wa poliisi, Okoth Ochola beemulugunye ku nsonga eno.

Ku by’enfuna yagambye nti bidobankanye olw’obwavu n’ebbula ly’emirimu n’agamba nti kya nnaku okuba nga gavumenti amakampuni g’abagwira g’ewa kontulakiti z’okukola emirimu egitali gimu ng’okulima enguudo  tegassaako mateeka gazikaka kukozesa Bannayuganda era bakung’anya musimbi gwabwe nga batwala bweru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...