TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abanyakula amasimu g'abantu mu jjaamu Poliisi ebakutte

Abanyakula amasimu g'abantu mu jjaamu Poliisi ebakutte

By Eria Luyimbazi

Added 10th April 2018

POLIISI yeezoobye n’abavubuka abagambibwa okubba abantu mu bulipanago ku nguudo z’omu Kampala bwe badde ekola ekikwekweeto okubafuuza.

Zziwa2 703x422

Omusirikale ng'aliko by'abuuza Zziwa ne Mubiru abaakwatiddwa ku nga babbira abantu mu jjaamu

POLIISI  yeezoobye n’abavubuka abagambibwa okubba abantu mu bulipanago ku nguudo z’omu Kampala bwe badde ekola ekikwekweeto okubafuuza.

Bino byabaddewo ku Mmande akawungeezi abasirikale okuva ku poliisi ya CPS  bwe baagenze ku Ntebe Road ne bakwata abavubuka babiri okuli; Bernard  Mubiru abeera e Kansanga ne Michael Zziwa oluusu eyeeyita Ssali abagambibwa okwenyigira mu kubba abantu n’okunyakula ebintu mu mmotoka  naddala amasimu ne badduka.

Akulira ebikwekweeto ku poliisi ya CPS, Ivan Nduhura yagambye nti okukola ekikwekweto kino kyaddiridde abavubuka okubba esimu n’ensawo ey’omu ngalo ku mukazi wabula abasirikale abaabadde balawuna ne babalengera ne bakwatako babiri.

“Waabaddewo abavubuka abava mu bitundu nga Kisenyi n’e Nsambya ababadde bajja mu kibuga akawungeezi ne babba ebintu ku bantu naddala mu bulippagano bw'ebidduka obubeerawo era bwe twafuye okwemulugunya okuva ku mukazi eyabadde abbiddwa kwe kugendayo ne tukwatako babiri,” Nduhura bwe yategezezza.

Yagambye nti okukwata abavubuka bano waasooseewo kulwanagana nga bagezaako okukuba abasirikale wabula ne banywezako babiri abalala ne badduka kyokka nga bafunye ebibakwatako era essaawa yonna bagenda kubakwata.

Abaakwatiddwa bakuumirwa ku CPS mu Kampala era bagguddwaako omusango gw’obubbi oguli ku fayiro SD: 81/09/04/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...