TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ochola akyusizza boofiisa 613 omulundi gumu: Alabudde bassemugayaavu

Ochola akyusizza boofiisa 613 omulundi gumu: Alabudde bassemugayaavu

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2018

Ochola akyusizza boofiisa 613 omulundi gumu: Alabudde bassemugayaavu

Ochola703422703422 703x422

Ochola

Oluvannyuma lw’okunyeenya abamu ku baduumira Poliisi Gen. Kale Kayihura be yali yaleka mu bifo ebitali bimu, ssabaduumizi wa Poliisi, Martin Okoth Ochola atandise okukwata ne ku boofiisa abali ku madaala ga wansi ababadde baludde mu bifo gye bakolera n’abakyusakyusa okwetoloola eggwanga lyonna.

Abakyusiddwa bava ku ddaala lya ‘Special Police Constable (SPC), okutuuka ku Sergeant (Sgt.) era bonna awamu  bawerera ddala 613.

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Patrick Onyango, yategeezezza nti bonna abaakyusiddwa baasoose kutwalibwa mu ttendekero lya Poliisi erisangibwa e Kabalye mu disitulikiti y’e Masindi ne babangulwa mu bukodyo obuggya gattako okubasomesa n'ebintu ebirala bingi bye baabakalaatidde okunyweza nga baweereza Bannayuganda, okusingira ddala okwewala obwassemugayaavu, okunywa omwenge ne bagangayira, okwewala obuli bw'enguzi, n'okutyoboola eddembe ly'obuntu. 

Abaserikale bano kuliko; nnamba Sgt. 24088 Amos Bagwaneza (Bukomansimbi), 43998 Sgt. Ingnitius Bafenda (Kayunga), namba 41384 Derrick Baakua (Sembabule), 24400 Sgt. Silvanus Ayese (VIPPU), 24716 Sgt. Judith Ayapo (CT), namba 37328 Sgt. Asuman Aruna (VIPPU), namba 34717 Sgt. Hellen Atai (Entebbe), namba 27480 Sgt. Alfred Arwoninga (VIPPU), namba 19072 Sgt. John Areikin (Mbale), namba 24716 Sgt. Frolence Alaso (Njeru), 29386 Sgt. Ezra Baluku (Mubende), 19250 Sgt. Stephen Bariruno (Entebbe), 38115 Sgt. Ahmed Basalirwa (MDD), 24092 Sgt. Godfrey Byamukama (Kalungu), 25795 Sgt. Benson Byomugabe (Entebbe), 21174 Sgt. Nathan Chelimo (Tororo), 21775 Sgt. Charles Etyang (Entebbe), 59762 Sgt. Julius Ewalu (Bukomansimbi), 33030 Sgt. George Gahutu (Kumi), 296 19 Sgt. Patrick Higenyi (VIPPU), 25460 Sgt.Paul Ilukor (Kumi),22970 Sgt. Joseph Imalingat (Entebbe), 42788 Sgt. Gideon Isemuthawge (VIPPU), 25702 Sgt. Robert Isenke (Oil & Gas), 29136 Sgt. Aliyu Kadambi (Iganga), 31210 Sgt. Charles Kaduuli (Entebbe), 30652 Sgt. John Kamagara (VIPPU), 31891 Sgt.Papius Kamari (Kamwenge), 44347 Sgt. Bernard Karuhanga (Tororo), 23371 Sgt. Venis Kasweet (Luweero), 25360 Sgt. Joshua Maxwell Kato (Masindi), 6804 Sgt. Gideon Ndikumwami (Ntungamo), n'abalala bangi.

Weekwate Bukedde w'enkya olabe lisiti ya boofiisa bonna abakyusiddwa mu bujjuvu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata