TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnansi wa Bangaledesh bamukutte asalinkiriza okwesogga Uganda

Munnansi wa Bangaledesh bamukutte asalinkiriza okwesogga Uganda

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2018

ABEBYOKWERINDA ku nsalo e Mutukula baliko omusajja munnansi wa Bangaledesh gwe bakutte ng’agezaako okusalinkiriza okwesogga eggwanga nga’yita mu kakubo akappanya okuva e Tanzania yeesogge Uganda.

Kwata 703x422

Abduhan Mustaphaa Kamal

Abduhan Mustaphaa Kamal abebyokwerinda bwe baamulabye n’agezaako okudduka ng’akozesa pikipiki ya Bodaboda kyokka ne bamusimbako ne bamukwata.

Kigambibwa nti ono yeebalamye okuyita ku nsalo awatuufu we bakeberera abayingira Uganda n’okudda e Tanzania.

Yasangiddwa n’ebiwaandiiko ebijingirire okuli ne paasipooti ezeekikwangala nga n’ebimu byaabadde biraga nti yabaddeko mu Dr. Congo.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Lameck Kigozi yategeezezza Bukedde nti ono akyali mu mikono gya poliisi ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Yagguddwaako fayiro y’okusangibwa n’ebiwaandiiko by’amawanga agenjawulo ebijingirire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...