TOP

Gavt. ereese ebbago eriwa abapangisa amaanyi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th April 2018

Gavt. ereese ebbago eriwa abapangisa amaanyi

C33703422 703x422

GAVUMENTI ereese etteeka erigaana landiroodi okugoba omupangisa okuva mu nnyumba okuggyako ng'amaze okufuna ekiragiro kya kkooti. Minisita w'eggwanga ow'ebyamayumba Dr. Chris Baryomunsi yabitegeezezza bannamawulire mu lukiiko lwe yatuuzizza ku ssengejjero ly'amawulire ga Gavumenti (Media Centre) eggulo.

Yagambye nti olukiiko lwa baminisita olwakubiriziddwa Pulezidenti Museveni ku Mmande lwayisizza ebbago ly'etteeka lino erigenda okuluhhamya enkolagana y’omupangisa ne landiroodi eryatuumiddwa 'Landlord - Tenant Bill, 2018'.

Landiroodi yenna alina okubeera n'endagaano y’obupangisa okuli amateeka abapangisa ge balina okugoberera. Omupangisa alina okugateekako omukono ng’akakasa nti waakugoberera byonna ebirimu. Balandiroodi bagaaniddwa okwongeza ssente z’obupangisa ezisukka ebitundu 10 ku buli 100 buli mwezi. Singa omupangisa abeera alemereddwa okusasula ssente z’obupangisa, nnannyini nnyumba alina kugenda mu kkooti n’eyisa ekiragiro ekimufulumya.

Bwagezaako okukozesa ekifuba n’ayonoona ebintu by’omupangisa abisasulira. Landiroodi bw'abeera ayagala okwongeza alina okukitegeeza abapangisa ng’ebula ekitono emyezi esatu ne bakimanya. Okufuuka omupangisa olina okubeera n'ebikwogerako naddala densite y'eggwanga bw'obeera Munnayuganda oba ekiwandiiko ekirala nga Paasipooti.

Abagwira nabo balina okubeera n'ebiboogerako ebikakasiddwa minisitule y'ensonga z’omunda mu ggwanga. Tewali kuddamu kusaba ssente za bupangisa mu doola nga bwe kibadde ku bizimbe okuggyako nga waliwo enzikiriziganya ey'enjawulo etuukiddwaako. Kino Pulezidenti Museveni yakiteeka ne mu manifesito ye kwe yanoonyeza obululu mu 2016.

Landiroodi takkirizibwa kusaba mupangisa ssente zisukka myezi esatu mu maaso. Omupangisa ajja kubeera wa ddembe okusasula emyezi egisukkawo singa anaabeeranga yeeyagalidde awatali kukakibwa.

Omupangisa y’agenda okubeera n’obuvunaanyizibwa okusasulira amasannyalaze n'amazzi by'akozesezza. Enkola ya landiroodi okuggyako abapangisa ssente ne bazitereka nga bagamba nti zaakulabirira nnyumba ng’ebadde efunye obuzibu, tekigenda kuddamu kubeerawo.

Nnannyini nnyumba takkirizibwa kugaana muntu kupangisa ku nnyumba nga yeekwasa ensonga z’obusosoze obw'enjawulo ng’amawanga, eddiini oba ekikula ky’omuntu.

Omupangisa ajja kubeera wa ddembe okuwawaabira nnannyini nnyumba singa awulira ng’amugoba mu nnyumba mu bukyamu. Ssente z’ebyokwerinda zirina okusasulibwa abapangisa ku ntandikwa y’omwezi okusobola okunyweza ebyokwerinda ku kizimbe. Twekisize w'apabangisa alina okutwalibwa nga kikulu. Landiroodi nga tamala galinnyirira bapangisa. Ennyumba zirina okuba mu mbeera nga buli mupangisa talingiriza munne.

Ebbago lino we lijjidde ng’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu kibiina kya KACITA baawa dda Gavumenti nsalesale wa March 25, 2018 okuba ng’etteeka erifuga abapangisa ne landiroodi nga lifulumye. Everest Kayondo ssentebe wa KACITA yategeezezza nti baasisinkana Sipiika Rebecca Kadaga n’abategeeza nti Gavumenti ye yali eremeddwa okuleeta etteeka lino mu Palamenti okulikubaganyaako ebirowoozo.

Ebbago lino limaze emyaka egiwera 10 nga liri mu bubage, nga buli mulundi lwe liba lireetebwa nga wabeerawo abantu abaliremesa. Okugeza eky’okusasuza abapangisa mu ddoola bannannyini bizimbe abamu mu Kampala bakiwakanya nga bagamba nti kino kimenya mateeka kuba ddoola ze zimu ku ssente ezikkirizibwa mu mateeka. Bagamba nti okuggyako nga bagaanyi doola okugula n'ebintu ebirala, beetegefu okukiwakanya mu mbuga z'amateeka.

Kyokka minisita Betty Amongi avunaanyizibwa ku by'ettaka n’amayumba yagambye nti okwemulugunya kw'abantu ku tteeka lino kujja kwongera okukolwako kuba litwalibwa mu Palamenti lyongerwe okuteesebwako nga terinnaba kussibwa mu nkola.

GAVT. ERAGIDDE URA KU AKAWUNTI Kabineti era yasazeewo okuyimiriza ekiragiro ekitongole ekisolooza omisolo ekya URA kye kyabadde kiwadde bbanka okutandika okukebera akawunti z'abantu bamanye ssente ze balinako.

Minisita w'ebya tekinologiya era omwogezi wa Gavumenti, Frank Tumwebaze yagambye nti, kino baakirabye nga kiyinza okuvaako obuzibu kuba abantu abamu balina ebigendererwa ebibi.

Yawabudde nti, URA ekolagane n'ekitongole kya Financial Intelligence Authority kuba balondoola ssente abantu ze bayingiza mu ggwanga n'okufulumya naye beesonyiwe bbanka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Blackcoupleangryfighting620330 220x290

Ebivaako abawala okugaana abalenzi...

OKWEGOMBA kyabulijjo mu bantu wakati w’abawala n’abalenzi era ekitonde ekisajja kyo kyakolebwa nga kiriwo okukwana...

Bula 220x290

EBBALUWA YA SSENGA: Essimu etuuse...

LWAKI bwe bakukubira essimu buli kiseera ovaawo n‛oleka omwami yekka ng‛ate muli ku kijjulo. Mbu waliyo abantu...

1 220x290

Maama w’abaana bamukubira ekiro,...

NNINA obuzibu ne mukazi wange. Obuzibu buno buva ku ssimu ze bamukubira buli kiro n’obubaka bwe bamusindikira....

Ssenga1 220x290

Bigambo ki ebikwana bannange?

Ssenga, ssinga nkwana omuwala n’agaana, nsobola kukozesa bigambo ki ebirala okulaba ng’akkiriza.

Sen1 220x290

Ssegirinya ebyana abikyusa nga...

Ssegirinya ebyana abikyusa nga bikooyi