TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire ya Moze Radio eyimirizza abantu okukuba ennyimba ze

Famire ya Moze Radio eyimirizza abantu okukuba ennyimba ze

By Josephat Sseguya

Added 12th April 2018

Moze Radio ng’amannya ge amatuufu ye Moses Ssekibogo, ennyimba ze ziteereddwaako envumbo nga tebakkiriza muntu yenna kuddamu kumala gazikuba buli w’asiimidde, okuziddamu, okuzigeegeenya ng’oyimba kaliyoki, okuzisimbulizaamu ebitundu n’obissa mu zizo n’okuzikozesa mu ngeri endala yonna.

Mowzeyradiowankyawa 703x422

Omugenzi Moze Radio

Balooya ba Moze era aba Good Lyfe aba Katende Ssempebwa and Company Advocates, baafuulumizza ekiwandiiko nga kirabula buli muntu agwa mu kkowe eryo nti singa tagondera kyasaliddwaawo ajja kuvunaanibwa ng’amateeka agafuga ebiyiiye (copy right) bwe gagamba.

Okukozesa ennyimba zino mu bulango ng’obulanga ebivvulu (drive) oba okulanga ebyamaguzi oteekeddwa kusooka kusasula.

Okuva Moze lwe yafa nga February 1, 2018, oluvannyuma lw’okukubibwa kanyama agambibwa okuba nga ye yali Godfrey Wamala ku bbaala ya De bar e Ntebe, ennyimba ze zaalinnya bbeeyi ng’oyinza okugamba nti ze zisinga okukubibwa mu biduula n’emikutu emirala.

Kigambibwa nti abantu baalumwa olw’engeri gye yafaamu ne basalawo okwekubagirizza ku nnyimba.

Abayimbi ennyimba baziyimba nga bwe ziri mu bivvulu nga waliwo eyeeyita Erio Disc ng’essaawa eno yeeyita Moze olw’okumufaanana na ddala akalevu.

Buli kivvulu asooka kweyanjula nga Erio muganda wa Moze Radio, n’atandika okuyimba ennyimba okuli olwa ‘Juicy Juicy’, n’amaliriza n’ezize ng’abantu bamaze okucamuka.

Ekiwandiiko tekyannyonyodde oba Weasel naye talina kuziyimba wabula engeri gy’ali wa kibiina kya Good Lyfe era nga Moze ky’ekibiina mwe yaziyimbira nga baaziyimba bombi, etteeka terimukwata.

We baakolera ekivvulu ky’okuweza emyaka 10, baali beegasseeko erinnya eppya erya RAW ekitegeeza Radio And Weasel era ng’ekibiina kya Angel Music ky’ekivunaanyizibwa ku nnyimba empya ze baali batandise okufulumya nga bwe kiri ku ‘Gutamiiza’.

Ekiwandiiko kiraga nti Angel Music y’erina yokka okugaba olukusa lw’okukozesa ennyimba za Moze Radio.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga